http://klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/slide3.jpg.jpghttp://klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide1.jpghttp://klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide2.jpg

EBBUGUMU LYEYONGEDDE

EBBUGUMU lyeyongedde mu nteekateeka z’okukuza emyaka 50 bukya Paapa atongoza Essaza ekkulu erya Kampala.

Eggulo, Dinale y’e Lubaga yawaddeyo ensimbi mu nteekateeka y’okulamaga kwa Dinale zonna ezikola Essaza lya Kampala era ye Dinale eyasembyeyo nga beetegekera ebijaguzo eby’omwezi ogujja.

 

Dinale y’e Lubaga ewaddeyo obukadde 10 n’emitwalo 15 n’ebirabo ebikalu. Egoberedde ey’e Nsambya eyalamaga wiiki ewedde n’ewaayo obukadde obukunukkiriza 17. Dinale y’e Lubaga ekolebwa ebigo okuli Ndeeba, Mutundwe, Busega ne Lubaga.

Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga yasinzidde mu Mmisa eno n’avumirira ettemu erikolebwa ku bantu eryeyongera buli olukya n’agamba nti livudde ku bantu kwerabira mateeka ga Katonda ekkumi okuli n’erikugira abantu okutta bannaabwe.

Abaana musanvu baafunye Essaakalamentu lya Kofirimansio.

Dr. Lwanga yasabye abazadde okujjumbira okwegayirira nga bali wamu n’abaana baabwe mu maka n’okubayigiriza Katikiisimu, bakule nga bassa ekitiibwa mu mateeka ekkumi okukendeeza ebikolwa ebikontana n’amateeka ga Katonda ebyeyongera.

Yakubirizza Abakristu okwezza obuggya nga bajaguza emyaka 50, nga bajjukira en- sibuko n’ennono ya Eklezia n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yabakwasa.

Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka ebi­jaguzo, Rev. Fr. Joseph Ssebayiga yeebazizza Abakristu olw’okwenyigira obutereevu mu nteekateeka zonna ezigenda mu maaso n’abasaba okweyiwa ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo nga October 25, 2017 ku ntikko y’ebijaguzo.

PIC: Ssabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga n’abaana be yawadde Kofirimansio.

Bya PONSIANO NSIMBI

Courtesy of Bukedde, Mmande September 11, 2017

 

 

 

 

free joomla templatejoomla template

GOLDEN JUBILEE OF EVANGELISATION

News

Today, all roads lead to St. Paul’s National Major Seminary, Kinyamasika, for the celebration of the seminary’s 25th anniversary. According to Fr Dr Lazarus Luyinda, the rector of the seminary, the celebrations will be graced by all the Catholic bishops of Uganda. Friends and benefactors of the seminary from Uganda and abroad will also grace the event.
2017-11-15 05:59:51
CLARIFICATION ON APOSTOLIC SUCCESSION: CAUSE FOR THE VALIDITY OF EPISCOPAL CONSECRATIONS IN THE CATHOLIC AND ORTHODOX CHURCHES The upcoming consecration of the self-excommunicated Priest Kibuuka Jacinto to the position of a Bishop has raised many questions in the public. The basic question that is emerging pertains: the authenticity and validity of this consecration as seen from the point of view of Antiochian Orthodox Church and the 23 independent Churches within the Catholic Church led by Pope Francis. 
2017-11-14 08:09:14

 

 

 

 

Saint Mary's Cathedral Rubaga, commonly referred to as Rubaga Cathedral, is the parent cathedral of the Roman Catholic Archdiocese of Kampala, the oldest Roman Catholic diocese in Uganda. In 1914 the missionaries began constructing a modern cathedral at Lubaga (Rubaga). Construction was completed in 1925 and St. Mary's Cathedral Rubaga was consecrated on 31 December 1925.

2017  Kampala Archdiocese