http://klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/slide3.jpg.jpghttp://klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide1.jpghttp://klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide2.jpg

KYENGERA PARISH DAY

OBUBAKA OKUVA EWA BWANAMUKULU

Abantu ba Katonda mwenna abassa ekimu mu kibiina ky'abakkiriza nti mu Yezu Katonda yafuuka omuntu nga ffe bw'atyo natugatta netubeera baana be ab'enda emu. Ekitufuula ekibiina ky'abakkiriza abakugaana bulijjo okutendereza Katonda bwetutyo ne tubeera Klezia wa Kristu e Kyengera. Awo nno mbalamusa mu kiramuso kya Paulo nti “ Eneema ya Mukama waffe Yezu, okwagala kwa Katonda wamu ne Mwoyo Mutuukirivu bibeere nammwe mwenna.

Ffe ng’ekimu ku bitundu by’ekibiina ebikola Klezia wa Kristu ow’Essaza lye Kampala tukuza olunaku lwaffe ng'abakristu b'e Kyengera. Twebaza Omukama atusobozezza era bulijjo ali naffe mu kukola byonna ebisobosezza Parish yaffe obutaddirira mu nkulakulana. Twebaza Omukama okutuwa Abakristu abeewayo okukuza Parish yaffe anti tewali lunaku luyitawo nga tolabye nkiiko zikolebwa era nga zonna zigenderera kukulakulanya Parish yaffe. Ddala tuli baana ba nd’emu era ffenna tussa kimu. Kino kirabikira nti kumpi buli mwaka waliwo ekipya ekikolebwa.

Omwaka guno tuli mu kumaliriza ekikomera Parish yaffe ewone okulumbibwa ababbi. Tusuubira mu November w’omwaka guno okutandika okuzimba essomero eppya erya primary. Abaana baffe nabo basomere mu ssomero ery’omulembe. Bannange mbebaza omutima ogwo ogwagala Parish yaffe era naffe Abasaserdooti ne mu twanguyiza okubaweereza obulungi. Mwebale era nsaba Omukama amaka gammwe agajjuze essanyu n'eddembe.

Ate mu linnya lya bannange bwetukola omulimu ogw’okubaweereza mbebaza nnyo okutwagala, okutulabirira obulungi. era sirowooza nti waliwo n’omu ku ffe gwemujjuza. Naffe tubasuubiza okwongera okubaweereza n'amaanyi gonna. Mmaliriza nga mbagamba nti eddembe lya Mukama waffe Yezu Kristu okwagala kwa Katonda n’okussa ekimu okwa Mwoyo Mutukirivu, bisigale nammwe mwenna. Mbagaliza olunaku olulungi.

 

Omuweereza wammwe Msgr. Lawrence Kanyike

Mukulu w’Ekifo

 

 PHOTOS FROM FR. JOSEPH SSERUGGA

 

 

 

free joomla templatejoomla template

GOLDEN JUBILEE OF EVANGELISATION

News

STATEMENT BY THE PLENARY ASSEMBLY OF THE CATHOLIC BISHOPS OF UGANDA
2018-06-20 06:25:30
Cardinal Wamala makes a private pilgrimage to Munyonyo. Cardinal Wamala has been out of the public limelight since end of last year.
2018-06-08 06:33:20

   

 

 

Saint Mary's Cathedral Rubaga, commonly referred to as Rubaga Cathedral, is the parent cathedral of the Roman Catholic Archdiocese of Kampala, the oldest Roman Catholic diocese in Uganda. In 1914 the missionaries began constructing a modern cathedral at Lubaga (Rubaga). Construction was completed in 1924 and St. Mary's Cathedral Rubaga was consecrated on 31 December 1925.

2018  Kampala Archdiocese