http://klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/slide3.jpg.jpghttp://klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide1.jpghttp://klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide2.jpg

OLUNAKU LWA BANNADDIINI

SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga agugumbudde bannaddiini abagufudde omuze okugenda nga basindira abantu ba bulijjo ebizibu byabwe ne batuuuka n’okubitwala mu mawulire.

 

Ssaabasumba okwogera bino yabadde akulembeddemu mmisa y’okukuza olunaku lwa bannaddiini mu ssaza olukuzibwa munsi yonna nga February 2 wabula nga bo baasazeewo okulukuza ku Ssande mu Lutikko e Lubaga nga bali wamu n’omusumba waabwe.

 

Dr. Lwanga yagambye nti bannaddiini balina omukisa nti tebanoonya mmere na waakusula nga bwekiri ku bantu ba bulijjo nga talaba nsonga lwaki beemulugunya ne batuuka n’okweyisa mu mpisa ekontana ne biragaano bye bakuba. “Mbasaba mweyagalire mu buweereza bwammwe ate mubwagale nga mujjukira ebiragaano bye mwalagaanya Omukama n’okukuuma Obutuukirivu.” Ssaabasumba Lwanga bweyategeezezza Yabakuutidde okukozesa obuweereza bwabwe okuyamba abalala okudda eri Omukama nga balaga ekyokulabirako ekirungi eri abalala kibayambe okumanya Katonda.

 

Ssaabasumba era yennyamidde olw’abazadde abeesuuliddeyo ogwannaggamba mu kugunjula abaana baabwe mu ddiini n’empisa ez’obuntubulamu nga balowooza nti buvunaanyizibwa bwa bannaddiini, ekintu ekitali kituufu. Mulina okukimanya nti obunnaddiini butandikira mu maka.

 

Ate ye akulira Lutikko Rev. Fr. Joseph Mary Bbuye yasabye bannadiini okukola ennyo okulaba nga baagazisa abalala obulamu bw’obunnaddiini naddala abaana abato n’okunywerera ku biragaano bye baakuba. Bano oluvannyuma bazzeemu okukuba ebirayiro byabwe n’okuwera mu maaso ga Ssaaba­sumba nga bwe bagenda okunywerera ku birayiro byabwe.

 

PIC: Ssabasumba Dr. Lwanga ng’awa emisubbaawa gya Bannaddiini omukisa.

 

Bya Ponsiano Nsimbi

Courtesy of Bukedde, Mmande February 5, 2018

free joomla templatejoomla template

GOLDEN JUBILEE OF EVANGELISATION

News

‘Mulime emmwaanyi temutunda ttaka kugula bodaboda’ VIIKA General w’essaza lya Kampala, Msgr. Charles Kasibante akubirizza ab’e Mawokota okulima emmwaanyi mu kifo ky’okutunda ettaka ne bagenda mu bibuga okuvuga bodaboda.
2018-05-22 07:03:36
Drawing inspiration from a Franciscan prayer, we might turn to the Truth in person:
2018-05-18 08:16:18

   

 

 

Saint Mary's Cathedral Rubaga, commonly referred to as Rubaga Cathedral, is the parent cathedral of the Roman Catholic Archdiocese of Kampala, the oldest Roman Catholic diocese in Uganda. In 1914 the missionaries began constructing a modern cathedral at Lubaga (Rubaga). Construction was completed in 1924 and St. Mary's Cathedral Rubaga was consecrated on 31 December 1925.

2018  Kampala Archdiocese