Ntwala omukisa guno okwaniriza abagenyi baffe mwenna wano e Bujuuko ku kifo kyaffe ekyabbulwamu omutuukirivu Karoli Lwanga. Olwaleero Iwa ssanyu nnyo era lunajjukirwanga mu byafayo ngatujaguza okutuuka ku lunaku luno. Bakadde baffe abaatusooka abaakola  nnyo okulaba ng’ ekifo kino kibeera ekigo olwaleero ekyaIi ekirooto kituukiridde, era nga tusagambiza wano ku nsi nsuubira nabo eyo gyebali tebaaleme kwesiima. Abo bonna omukama be yayita, tusaba Omukama abatuweere ekiwummulo eky’emirembe.

 

Okwebaza.

Njagala nnyo okwebaza mukadde waffe Cardinal Emmanuel Wamala eyatuwa ettaka eriweza acres 5 eziri wano ku kasozi Bujuuko.

Mungeri eyenjawulo neebaza kitaffe Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga, eyatuwa Rev. Fr. Jude Ssemakula Bwanamukulu w’e Muduuma Parish etuzadde eyalaba nga ddala Bujuuko akula era ng’asaanidde okubeera ekigo. Nnyongera okwebaza omusumba eyatuwa Rev. Fr. Anthony Bbaale okututeetekateeka era atukozeemu omulimu amakula.

Kitaffe Ssabasumba tukwebaza olw’okutusabiranga bulijjo n’kutulambikanga bulijjo era twebazza n’ebyo byonna by’otuwadde ngatuli ku mulimu ogw’okuzimba.

 

Neebaza Episcopal Vicar waffe ow’e Mitala Maria Rev. Fr. Denis Ssebunnya atulambise obulungi ngatuli ku mulimu guno, Msgr Lawrence Ssemusu abadde musaale nnyo mu nteekateka eno era abadde atulambula ntakera. Chancelor Fr Joseph Mary Ssebunya tukwebaza okutulambika obulungi n’okutulambula. Pastoral co-ordinator Fr. Mark Ssajjabbi tukwebaza singa tewali gwe twandibaddewo tutya nga tetulina nsalo. Ssaabakristu w’essaza Mr. Anthony Mateega naawe tojjangookwo.

Ba Rev. Fr. Abazaalibwa mu kifo kino ne banaddiini bakoze omulimu munene mukuwagira enteekateeka zino n’okutusabira.

Hon Amelia Kyambadde akoze bingi ku kifo kino .Hon Nakawunde Sarah Temulanda atuwagidde nnyo.

Neebaza abakristu mwenna ab’ekifo kino abakola obutaweera okulaba nga tutuuka ku kkula lino. Nnyongera okwebaza Abakristu, n’abantu ba Katonda bonna ab’omwoyo omulungi okuva mu bitundu eby’enjawulo abatuwagidde nga tukola omulimu gw’okuzimba wemujje omukama abaddizewo.

Okuyozaayoza.

Njozaayoza Abakristu b’e Bujuuko mwenna okutuuka ku lunaku luno, mu ngeri y’emu nga tujaguza omwaka guno ogwa Jubileewo ey’emyaka 50 mu Ssazza eKkula enyo Kampala.

Nga nfundikira ntegeeza abakristu mwenna nti kyetubadde tulwanirira tukifunye, naye eyo ntandikwa ey’olugendo Iwaffe okuzimba omusingi omugumu ogw’obukristu era mbakubiriza tugende mu maaso n’okuzimba omusingi omunywevu ogw’obukristu.

Naffe baganda bammwe tukyali mu lutalo mutuwolereze nnyo eddini tuginyweze. Omukama abankuumire.

 

KATUSABE Joackim

 

Ssabakristu, Bujuuko Parish

free joomla templatejoomla template
Catholic Church celebrates 139 years of first missionaries The first two missionaries, Simeon Lourdel popularly known as Mapeera and brother Delmas Amans (Amansi), who came to spread Christianity and taught religion to the 22 Uganda Martyrs.
2018-02-20 06:35:12
Archbishop Lwanga calls Christians to abandon evil. Lwanga cautioned against telling lies, saying it has become order of the day for the majority of Ugandans. KAMPALA - The Archbishop of Kampala Archdiocese, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, has called on Christians to abandon evil ways and return to God.
2018-02-15 09:05:40
I am not sick, says Cardinal Wamala "I am not sick at all, I am fine. I was only advised by doctors to reduce on my schedule and rest."
2018-02-13 05:57:56
SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga agugumbudde bannaddiini abagufudde omuze okugenda nga basindira abantu ba bulijjo ebizibu byabwe ne batuuuka n’okubitwala mu mawulire.
2018-02-09 06:45:37
Juliet J. Lukwago‎ to Kampala Archdiocese  ·    Maria Nyerere (widow of former president Nyerere of Tanzania) visits Archbishop of Kampala Archdiocese
2018-02-01 08:57:08

Archdiocese calendar

loader
2018  Kampala Archdiocese