Bwanamukulu essira alitadde ku kulima butunda

ATEGA ogumu taliira. OKUKOLA emirimu gya Klezia kirungi, wabula bw’omaliriza okulyowa abantu emyoyo kikulu okukola n’emirimu emirala egikuyamba okukuyimirizaawo.

Fr. Joseph Kimbugwe 47, Bwanamukulu w’ekigo ky’e Buyege e Wakiso, Ssaza ekkulu erya Kampala ekigambo akigasseeko okulima n’okulunda.

 

Fr. Kimbugwe mulimi, alima ebintu eby’enjawulo okuli obutunda, entula, emicungwa, ennyaanya, lumonde n’ebirala. Mu by’alunda mulimu embizzi n’embuzi nga ffaamu yagitandika mwaka guwedde.

 

LWAKI YASALAWO OKULIMA

Fr. Kimbugwe agamba: Nasalawo okwenyigira mu bulimi n’obulunzi okuwa ekyokulabirako eri Abakristu naddala abali mu kyalo abalina n’ettaka kwe basobola okukolera nabo banjigireko bye nkola ate bagende mu maka gaabwe babiteeke mu nkola.

Ekigo kirina ettaka erisoba mu yiika 100, ate ekitundu kyaliwo nga tewali kikolebwako kwe kusalawo okutandika okulikozesa.

 

OBUGAZI BWA FAAMU

Obutunda buli ku yiika emu, kasooli yiika ssatu, lumonde yiika bbiri n’ebirala. Amaanyi njagala kugateeka ku butunda, wadde nga natandika ne yiika emu naye njagala okulaba nga ngaziya omulimu guno okulimira ddala awantu awagazi.

Fr. Kimbugwe ng’abikka ennimiro y’obutunda bw’alima.

 

EKIKA KY’OBUTUNDA KY’ALIMA

Nnima obutunda ekika kya UPF 12 abangi bwe baakazaako obutunda Obuganda, ekirungi ekikaliko kakola ssupu omulungi ate nga kalina akawoowo ekikawa enkizo mu katale ku butunda obulala.

Ekirala kano ekitandaalo kyako bw’oba ng’okirabiridde bulungi kisobola okuwangaala emyaka egisoba mu ebiri, kyokka bw’oba omaze okunoga kasobola okuweza wiiki ezisukka mu bbiri nga kalamu olumu n’okusingawo.

Ssinga omusana gukakwata, tekafa mangu ate bw’oba ng’olinawo ku mazzi n’ofukirirako, oba oddidde ejjinja limu n’okuba ebinyonyi bibiri kubanga ekitandaalo kiwangaala ate ne kasigala nga kakuba ebimuli ne kikusobozesa okukanoga ebbanga eddene nga towummudde.

 

ENNIMA EY’OMULEMBE

Obutunda mbusimba mu nnyiriri nga mbuwa amabanga ga ffuuti 8 ku 8 okusobola okweta obulungi, n’obutakola nzigotta nga bulinnye ekitandaalo. Ku wiiki esooka nga mmaze okusimbuliza nsooka kuteekako kigimusa kya NPK ekibuyamba okusituka nga bw’amaanyi ate oluvannyuma lw’emyezi esatu ne nteekako CAN abuyamba mu kukuba n’okukwasa ebimuli obulungi. Olw’okuba obutunda mbeera mbusimbye mu nnyiriri, enkondo zinnyanguyira kuba wakati w’ebikolo ebibiri nteekawo ekikondo.

Nnina okubukuuma nga temuli muddo, okubukubako amakoola n’okusalira, kuba buli lwe bukwata enzigotta ate tebubala.

Ekirala obutunda enkuba ng’etonnya olina okufuuyira buli luvannyuma lwa nnaku ttaano, kyokka mu biseera by’omusana omala ennaku 10 n’oddamu okufuuyira.

Akatunda kafuuyire okuva ku kikolo wansi okutuuka waggulu okusobola okulwanyisa endwadde.

 

AKATALE K’OBUTUNDA

Akatale kanene, abasuubuzi bajja ku ffaamu ne babugula kyokka n’abantu ssekinnoomu nabo babutwala okwo gattako okubutunda wano ku kigo, kyokka kati waliwo aba wooteeri ennene abaagala nabo ntandike okubaguza obutunda.

 

EBISOOMOOZA

Ekimu ku bisoomooza kwe kuba nti embeera y’obudde ekyukakyuka, omusana gwaka ekivaako obutunda n’ebirime ebirala obutakula bulungi.

Ky’ova olaba ng’abantu balina okufaayo okuddamu okusimba emiti n’obutakozesa bubi ntobazzi okusobola okumalawo ekizibu ky’enkuba obutatonnya mu biseera.

 

OBUYIIYA

Okusobola okufuna mu nnimiro nasalawo okulima entula mu nimiro y’emu n’obutunda. Kino nakikola kubanga eddagala erifuuyira obutunda lye limu erifuuyira n’entula.

Kino kitegeeza nti, eddagala eriva waggulu ku kitandaalo nga tufuuyira ate ligwa ku ntula nazo ne zifuna okusinga okugwa ku ttaka ne ligendera obwereere.

Olw’okuba obutunda bwange ekika kirungi, ngenda kutandika okwemereza endokwa olwo ndekere awo okuzigulanga nga nnyongera okugaziwa.

 

OKWONGERAKO OMUTINDO

Essaawa eno sinnaba kutandika kwongerako mutindo ku butunda, wabula mu bbanga eritali ddene njagala kufunayo obuuma obutonotono obukamula obutunda nga kuno kwe nja okuzimbira okutandika ekkolero.

Kyokka njagala kusooka kwagazisa Abakrisitu nabo okutandika okubulima mu bungi olwo mmanye nti bwe ntandika okubukamula ate tebujja kuggwaawo.

 

OKUYAMBA ABALALA

Ffaamu eno eyamba abantu bangi naddala Abakristu b’e Buyege kubanga bafuna ekyokulabirako ne bafuna amagezi ag’obwereere okuva ku nnimiro zange nabo kye mmanyi nti bagenda ne bagateeka mu nkola ate gye bujja nja kutandika okugenda nga nnambula omu ku omu.

Ffaamu eno eyamba abavubuka naddala abaana b’amasomero abajja wano ne bannyamba okulimamu olwo ne bafuna ssente ezibaweerera kubanga abazadde abamu mu kitundu kino tebalina nsimbi kubasasulira bulungi bisale bya ssomero. Kino bakikola mu kiseera kye bamala mu luwummula.

 

OKUBAAWO KWA FAAMU NGA TALIIWO

Faaza Kimbugwe yagambye nti, “Nsuubira ne bwe ndiba nvudde e Buyege nnina essuubi ddene ffaamu eno okubeerawo kubanga faaza yenna aliddawo sirowooza nti ajja kulemwa okutwala omulimu guno mu maaso,” bwe yamalirizza.

 

Fr. Kimbugwe ng’ali mu nnimiro y’obutunda bw’alima ku kigo.


 

Courtesy of Bukedde, By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2017

Bya EMMANUEL SSEKAGGO

 

 

free joomla templatejoomla template
UGANDA-CATHOLIC-BISHOPS-WARN-AGAINST-INTRODUCTION-OF-GMOS-IN-THE-COUNTRY The Catholic Bishops in Uganda have warned the Government against the introduction of Genetically Modified Organisms (GMOs) and Genetically Engineered (GE) products into the country. The bishops have protested against The National Bio-safety Act 2017 which Parliament approved into law last year, and is now waiting for the approval and signing by the President of Uganda.
2018-07-18 07:21:42
Bishop Ssentongo calls for responsible parenthood.  ‘If our children get a solid moral and religious foundation, problems like corruption, violence, environmental degradation, permissiveness and lack of respect for life will be overcome’
2018-07-17 07:42:16
Bishop Kaggwa calls for pro-people leadership 'Today Uganda needs humble leaders, who work for the common good of their subjects' The Catholic Bishop of Masaka diocese, Dr. John Baptist Kaggwa has asked political leaders at all levels, to always work for the positive interests of their people. He blamed some politicians, who he said just pay lip-service to the needs and concerns of their people, instead of solving them.
2018-07-12 06:38:21
Archbishop Lwanga singles out the numerous murders, defilement and child sacrifices as the most worrying crimes presently. KAMPALA - The Archbishop of Kampala Archdiocese has decried child abuse, domestic violence and sex abuse, saying it impedes a child's mental development. 
2018-07-10 06:17:04
Bukalasa Minor Seminary celebrates 125 years The event took place at Bukalasa on Saturday June 30 and it was led by the Diocesan Bishop of Masaka John Baptist Kaggwa. By Admin Courtesy of New Vision, Added 30th June 2018 04:06 PM
2018-07-04 08:55:19

Archdiocese calendar

loader
2018  Kampala Archdiocese