Abantu ba Katonda mwenna era balamazi bannange.

Mbaaniriza mu kifo kyaffe kino eky’e Bulimu, Omutuukirivu waffe era Omuwolereza w’e Ssaza lyaffe ery'e Lugazi, Pontiano Ngondwe we yazaalibwa (era bwe butaka bw'ab’e Nyonyi).

Nnyaniriza mu ngeri ey'e njawulo Abasumba, n’Abalamazi abavudde mu masaza aga Province yaffe ey’e Kampala: Kampala, Masaka, Kiyinda - Mityana, Kasana - Luweero ne Lugazi.

 

Ffe nga ab’e Lugazi twebaza Katonda kubanga omwaka guno 2017, oluwalo lwaffe okukyaza amasaza gano mu kifo kye tulamagiramu ng’e Ssaza.

Okulamaga kwaffe kuno kwe tulimu, kutukuvu era kugendererwamu okunyweza okukkiriza kwaffe. Guno mukisa gwa njawulo eri buli mulamazi yenna okwegonnomolerako enneema n’emikisa gya Katonda.

Okulamaga mu bifo ebitukuvu, nga kino eky’e Bulimu, kuteekeddwa okutusembeza okumpi n'awali Yezu. Obuvumu abajulizi baffe bwe baayolesa mu budde bw'ebiyigganyizo eby’eddiini bwava ku kumatira Yezu. N'abatume be tusomako mu Kitabo ekitukuvu baamatira Yezu; anti buli we bagendanga nga bawoza kimu "oyo gwe twalya naye ng’amaze okuzuukira mulamu". (Ebikolwa 10, 41-42).

Okulamaga okutukuvu kwandibadde kututuusa ku mmeeza ya Kommunio; olwo naffe ne tusobola okulangirira nti gwe tufuna mu Sakramentu lya Ukaristia, mulamu era atuwanguza byonna.

Okukkiriza okunywevu kwesigamye ku Ukaristia era awo we wava amaanyi gaffe mu lutalo lwe tulimu ne Sitaani.

Okulamaga kwaffe kuno okutukuvu ebeere ensibuko y’obulamu obuggya obusimbye mu Kristu Yezu.

Omukama abampeere omukisa ne Pontiano Ngondwe atusabire.

Omuweereza wammwe,

 

+ Christopher Kakooza OMUSUMBA W'ESSAZA LY E LUGAZI

free joomla templatejoomla template
Nun restores hope for children with disabilities Though society tends to under look persons with disability, Sr. Margaret Awori of St Francis Rehabilitation Centre has instead utilized her calling as a nun to uplift and empower children with disabilities.
2017-12-06 08:10:37
Message of His Grace Dr. Cyprian Kizito Lwanga on the Priestly Silver Jubilee of Rev. Fr. Dr. Joseph Sserunjogi it is with profound joy that I convey my heartfelt congratulations to our Jubilarian Rev.Fr. Dr. Joseph Sserunjogi. After twenty five years of fruitful priestly service in the Lord's vineyard, it is inevitably right to offer a thanksgiving sacrifice to the Lord for His Mercy and Goodness, because he has enabled you celebrate the mysteries of Christ faithfully and religiously as the Church has handed them down to us for the glory of God and the sanctification of Christ's people. This is the day that the Lord had made; let us rejoice and be glad in it (Ps 118:24).
2017-11-29 08:31:24
Today we are all united physically and spiritually to celebrate the Golden Jubilee of the Diocese of Jinja. It is my pleasure as Bishop to heartily welcome all of you.
2017-11-29 06:52:49
Left to Right: Jinja Diocese Bishop Charles Martin Wamika, Tororo Archbishop Emmanuel Obbo, President Museveni and Kampala Archbishop Cyprian Kizito Lwanga cut a cake during celebrations to mark 50 years of Jinja Diocese at St Joseph Cathedral in Jinja Town yesterday.
2017-11-29 06:23:37
Abantu ba Katonda mwenna era balamazi bannange. Mbaaniriza mu kifo kyaffe kino eky’e Bulimu, Omutuukirivu waffe era Omuwolereza w’e Ssaza lyaffe ery'e Lugazi, Pontiano Ngondwe we yazaalibwa (era bwe butaka bw'ab’e Nyonyi). Nnyaniriza mu ngeri ey'e njawulo Abasumba, n’Abalamazi abavudde mu masaza aga Province yaffe ey’e Kampala: Kampala, Masaka, Kiyinda - Mityana, Kasana - Luweero ne Lugazi.
2017-11-28 08:08:08

Archdiocese calendar

loader
2017  Kampala Archdiocese