OUR LADY OF ASSUMPTION - MITALA MARIA PARISH

A Family Day  after 119 Years

25th October 1899 - 26th August 2018

Yogaayoga nnyo Our Lady of Assumption Parish Mitala Maria; osajjakudde!!!!

 

 

OBUBAKA OKUVA ERI KITAFFE SSAABASUMBA W’ESSAZA EKKULU ERY’EKAMPALA DR. CYPRIAN KIZITO LWANGA

 

Abantu ba Katonda mwenna,Mbakulisa okutuuka ku lunaku Iw'Ekifo kino eky'eMitala Maria olw'omwaka 2018. Ekifo kino kyatandikibwa nga 25 Mukulukusa bitungotungo (October) 1899, nga kyatandikibwa omukulu Pere Joseph Laane ne Brother Dominic Hooge abaasindikibwa okuva        e Lubaga bakube ekifo ekiggya mu Mawokota wakat wa Lugaba ne Villa-Maria. Awo nno giweze emyaka 119 bukya kifo kino kitandikibwa. Buli mwaka, tukungana okukuza olunaku Iw'ekifo kino ekyakwasibwa Biikira Maria eyatwalibwa mu ggulu, nga tukuza Ukarista n'okuddamu okuwera okunywerera ku Kristu nga entabiro y'obulamu bwaffe nga BannaMitala- Maria. Nga tukuza olunaku Iw'Ekifo omwaka guno, mbasaba twebuuliirire ku mpagi zino essatu:   tujjukire, tujaguze, twezze buggya.

 

TUJJUKIRE

Bwe twogera ku mpagi esooka, tujjukira ki? Tujjukira obukristu bwaffe, nga guno gwe musingi omunywevu ekifo kino kwe kitambulira. Tujjukira nt tulina omukisa okubeera abakristu n'okwetaba mu bulamu bw'Amasacramentu naddala Matrimunyo ne Ukarista ge tugenda okukuza leero. Tujjukira era abaminsani abaatandikawo ekifo kino n'abo bonna abakoze obutaweera okulaba nga ekifo kino kifuuka ekifo ekyeyagaza. Abaminsani be tujjukira be ba White Fathers abaakuba ekifo kino era ne bakiddukanya okuviira ddala mu 1899 okutuukira ddala mu Gatonnya (January) 1990, Rev. Fr. Joseph Njala bwe yadda mu kifo kya Pere Raynald Pellet er nga Bwanamukulu. Tujjukira n'Abakristu abaakolera ennyo Mitala Maria nga etandika, nga Omugenzi Agost no Katwere eyayambako Pere Joseph Laane okukunga abantu okuzimba Kelezia eyasookera ddala nga eno yali ya ssubi. Tujjukira n'ebibala Mitala Maria byezadde. Mu bibala bino mwe muli n'Abajulizi Yozefu Mukasa Balikuddembe ne Mugagga Lubowa. Balikuddembe yazaalibwa Omwami Njubeeseeta n'Omukyala Maria Sarah Kajwayo abaaberanga mu Lusinga mu kisomesa ky'eKawumba nga kino kiri mu Mitala Maria. Mugagga Lubowa naye yazaalibwa Omwami Mazinga n'Omukyala Nasubwa mu kisomesa ky'eJjalamba nga nakyo kiri mu Mitala Maria. Tetulema era kujjukira Abasaserdoot ne Bannaddiini abangi Mitala Maria b'ezadde. Muno mwe muli ne Ssaabasumba August ne Kasujja, nga ono ye mubaka wa Paapa mu Belgium. Okujjukira bino byonna kitwoleka nt Mitala Maria ggwe wamma kifo kya nkizo mu ssaza lino ekkulu ery'eKampala.

 

TUJAGUZE

Nga tumaze okujjukira byonna Mitala Maria by'eyiseemu, tujaguza olw'ekisa kya Katonda asobozesezza Mitala Maria okuwuunuuka byonna ebisoomooza. Tujaguza n'olwebirungi byonna Katonda byawadde ekifo kino. Tujaguza olw'ekyo Mitala Maria kyeri mu kaseera kano. Tujaguza oiw'enkulaakulana ffenna gyetulaba eri mu Mitala Maria mu kaseera kano. Twebaza bonna abeenyigidde mu nkulaakulana eno naddala omubaka waffe mu bbendobendo ly'eMitala Maria era nga ye Bwanamukulu w'Ekifo kino, Rev. Fr. Denis Kizito Ssebunnya. Twebaza nAbasaserdoot b'akola nabo emirimo mu kuddukanya ekifo kino: Rev. Fr. John Bosco Ssempijja, Rev. Fr. George William Ssentamu, Rev. Fr. Anthony Mugerwa ne Rev. Fr. Bruno Sserunkuuma. Tujaguza olw'obukristu obunnyikidde mu Mitala Maria nga kino kyeyoleka mu bulamu bw' Amasacramentu. Nga 11 Augusto, omu ku bavubuka be twawa Obudyakoni e Lubaga, Dn. Henry Mubiru ava muno mu Mitala Maria. Leero ate mu ngeri ey'enjawulo, tulina abagole baffe abagenda okufuna Esacramentu lya Matrimunyo. Bino byonna byoleka obujjumbizi BannaMitala-Maria bwe mulina eri obulamu      bwAmasacramentu era tujaguza olw'ekyo.

 

TWEZZE BUGGYA

Empagi     ey'okusatu era nga y'esembayo kwe kwezza obuggya. A bantu       b'e Mitala Maria, tulina okwezza obuggya mu kukkiriza kwaffe. Twongere okwet anira Amasacramentu n'ebyo byonna ebyoleka obulamu obukristu. Twezze buggya nga tuzimba obukristu okuviira ddala mu maka gye tubeera ne mu bubondo bwaffe. Tufube okulaba nga obulamu bwaffe bwoleka ebyo ebitusuubirwamu nga abakristu. Gby'okugendanga mu masabo n'okwolesa emize egyesit aza tubiveeko kuba tebituzimba nga abantu. Twet anire nnyo ebyo ebituzimba. Ebimu ku bino mwe muli                      eby'enjigiriza. Tutwale abaana baffe mu masomero basome era tubayambe mu byetaago byabwe byonna. Tulina        era okwezza obuggya mu ndowooza zaffe. Mitala Maria erina okwetengerera nga ekifo (okubeera self-reliant).

 

Okutuukiriza kino, tulina okuyiga okukola ennyo. Katonda atuwadde ebyobugagga bingi mu Mitala Maria naddala eky'obugagga eky'et aka. Tukole nnyo nga tukozesa eky'obugagga kino tusobole okwebbulula mu bwavu. Bwe nnafuulibwa Ssaabasumba w'essaza ekkulu ery'eKampala, nnalondaengombo gye ntambulizaako obuwereza bwange, "Ora et Labora ut habeat vitam" (Twegayirire nga bwe tukola tusobole okubeera abalamu mu bujjuvu). Engombo eno gye mbajjukiza mmwe Banna-Mitala Maria. Tukole nnyo n'emikono gyaffe nga bwe twegayirira Omukama emirimo gy'emikono gyaffe agiwe omukisa. Mu kukola emirimo gyaffe, twet anire nnyo ebibiina eby'obwegassi nga ekibiina kyaffe 'Weekembe'. Omugenzi Rt. Rev. Adrian Kivumbi Ddungu eyali Omusumba w'Essaza ly'eMasaka yagambangant, "Ab'oluganda bwe bakolera awamu bazimba ekigo ekigumu". Awo nno nafFe twegat e wamu mu bibiina eby'enjawulo tusobole okugoba obwavu mu kitundu kyaffe kino. Nga mpunzika, mbeebaza mwenna abat ndizze engendo okujja ku lunaku Iw'Ekifo Mitala Maria omwaka guno. Nneebaza n'abo bonna abalina kye bakoze okulaba nga emikolo gyonna gigenda bulungi. BannaMitala- Maria nnyongera okubagumya nt tuli wamu nammwe. Tubasabira nga tuyita mu buwolereza bwa Biikira Maria eyatwalibwa mu ggulu, Omukama ayongere okubayiwako emikisa gye mu bulamu bwammwe ne mu mirimo gyammwe.

 

+Dr. Cyprian Kizito Lwanga

Ssaabasumba w'Essaza ekkulu ery'eKampala

 

 OUR LADY OF ASSUMPTION

MITALA MARIA PARISH MU MITALA MARIA VICARIATE

EPISCOPAL VICAR: REV. FR. DENIS KIZITO SSEBUNYA

 

Omubala:      Tujjukire Tujaguze Twezze

 

Buggya: Nga Tuzimba Mitala Maria Parish eyetengeredde!!!

KitaffeSsabasumba, Omugenyi waffe Omukulu n'Omukyala ba Magoola, abakungu mwenna abeetabye ku ukolo guno, ku Iw'Abasaserdoot, Bannaddiini, n'abantu ba Katonda bonna, mbaanirizza nnyo ku lunaku Iw'ekifo kyaffe. Olwa leero nga tujaguza olw'okuweza emyaka 119 bukyanga kigunjibwawo. Bwaba mwana eyazaalibwa mu budde obwo, kat nno azzukuzza era atuuse ku bannakasatwe. Tulina ensonga ssatu ng'esooka kwe kwebaza Omukama, nga tuyit ra mu Kitambiro kya Missa. Omukama oyo eyatutonda n'atweroboza okubeera abakristu era atuliikiriza ng'ayitra mu kigambo kye n'obulamu obw'Amasakramentu. Eyokubiri, tuzze okunnyikiza ennyingo y'Amaka naddala amatukuvu. Eklezia ezimbirwa ku maka amanywevu. Awo nno leero tuli wano ng'abaana ab'enda emu nga tukulemberwa mukadde waffe Ssabasumba. Era ensonga eno tugisimbyeko nnyo essira nga tuyit ra mu Ssakramentu lya batsmu ery'abaana abawere n'abagole baffe abagat ddwa mu bufumbo obutukuvu emigogo 14. Mu bisomesa ng'e Katebo, Kanaani, Ssenyondo n'ebirala omulimu gw'okuzimba Eklezia gugenda mu maaso. Ey'okusatu y'eyokuzimba Mitala Maria eyetengeredde. Twagala abakristu bonna okuzuula nt ekigo kino buli omu alina obuvunaanyizibwa okukizimba n'okukulaakulanya,       okutuukana n'omut ndo gw'akakyo kaffe. Awo nno kamu kamu gwe muganda era tukubiriza buli muntu okujjumbira okuwaayo et offaali lye. Omukama atuwadde nnyo naffe tumuddize, nga tuzimba ekigo ekyetengeredde.  Kino kitegeeza nt Parish eno erina okubeera eky'okulabirako ekirungi mu bikolebwa eri Parish ento nga mwe muli okwetengerera mu kutendereza Omukama n'okufuna ebikozesebwa byonna, mu by'enfuna nga Parish okuviira ddala mu maka, mu by'enjigiriza mu masomero gaffe, mu by'obulamu, mu by'enzirukanya y'emirimu gyonna egigwa mu kkowe eryo.

 

Olwa leero Mitala Maria ayooyoose Eklezia munda n'ebweru, tuggudewo ekifo omutundirwa ebitukuvu by'Eklezia, wamu ne Cardinal Emmanuel Nsubuga Mult Purpose Centre eneeyamba okutabaganya naddala abavubuka mu by'emizannyo, St. Anne Parish Hall nayo etuyambye nnyo okutuuza enkiiko n'okuleeta ejjamba mu nsawo yaffe, ekyuma ky'emmwanyi kyaggulwawo, era nga kat abatuuze naddala abakristu balina ebbanja okusunsulirawo n'okusuubulirawo emmwanyi mu bwegassi. Omulimu gw'okugaziya ennyumba z'abakulu we bawummulira gukwajja. Mu mwezi gwa June 2018, twafuna Inspector w'et aka okuva mu Kampala Archdiocese Land Board era nga kat atuula wano buli Iwakubiri n'olwokusatu era ng'atuuse ne mu bisomesa bingi okuli Buyiga B', Bukiina, Kirega, Katebo, Buwanda, ne Mitala Maria era nga tulina essuubi nt zino zijja kugonjoolwa mu ddembe. Okusoomozebwa kwe tukyalina y'ennyingiza ekyali ennafu okuviira ddala mu maka, era nga kino kikosezza nnyo ennyingiza ku Parish; endwadde, obutabanguko mu maka ne ku nnyanja mu bavubi, obubenje, obubbi, obugayaavu n'enjaga mu bavubuka, abazadde abatannafaayo ku kusomesa baana baabwe kubamazaako waakiri O' level nga n'abalala tebannfaayo kusomesa baana bya mikono. Essuubi lye tulina kwe kussaawo ekizimbe ekya kalinaabiri ku t aka lyaffe okutandikira ku Mitala Maria Stage. Lino nga lye limu ku makubo mwe tusuubira okufuna ensimbi ziwanirireeggwanika lyaffe.Tulina ne kaweefube ow'okutandika okusimba emmwanyi ku t aka lya Parish okusobola okugaziya ebirikolerwako nga bigasa Parish. Mu kkowe lye limu, ebisomesa bikubiriziddwa okutandikawo emirimu egiyamba ennyingiza yaabyo ku t aka ly'Eklezia ng'okusimba emit. Twebaza nnyo Kitaffe Ssabasumba olw'okutusumba obulungi n'okuwa enkizo olunaku Iw'ekifo kyaffe kino, n'otuwanga obudde n'okutulabirira naddala ng'Abasaserdoot bo be watuma mu Parish eno. Kitaffe tusiimye nnyo. Mu ngeri ey'enjawulo nneebaza nnyo ba ssebo Abasaserdoot olw'okuweereza obulungi buli omu mu kitongole kye ate n'olw'enkolagana ennungi gye tulina wano ku kifo, ne mu bakristu baffe bonna. Mwebalire ddala bakulu.

 

Twongera okwebaza ennyo Omulangira Wasajja n'omuzaanawe Marion, , Dr. Ann Nanteza, Mr. Patrick Mukasa, DR. Kasozi Mulindwa, Owek. Jolly Lutaaya, Omutaka Kakinda, Mw. Wilberforce Lugayaavu, Dr. Esther Namuli, Dr. Rose Lukwago, ab'enju ya Mw. George Kawooya, ab'enju ya Mw. Nnywevu, Mw. Ssewambwa Vincent, Mw. Julius Ssewambwa, ba Ssabakristu mu bisomesa awamu    n'abakulembeze ku mitendera gyonna, Mw. Luwakanya John Mary, Mw. Ben Nnyanzi, Mw. Mayeko n'olukiikooluteesiteesi,abakulu b'amasomero n'ebitongole byaffe byonna, aba Buganda Land Board, Centenary Bank, Dei Industries, MTN Uganda, Uganda Police, abaana enzaalwa abazze ssekinnoomu, olw'okwefirizanga          buli ke mulina ne musobola okutukwat zaako mu mulimu ogw'okuzza Mitala Maria Parish ku nt kko.

 

Twebaza nnyo bannaffe mwenna abatoola buli kye musobola olw'okutulabiriranga wano ku kifo ate ne bwe tuba tuzze okubalambula mu bisomesa ne mutusibiriranga. Mwebale nnyo mwenna abatodde obutakoowa ne mwenyigira mu nteekateeka z'olunaku Iw'ekifo kyaffe luno. Mwebalire ddala abakulembeze ku mitendera gyonna.

 

Eri abakristu baffe mwenna, akaffe kkye!!!!! Ant mm we mboogerako mpola Iwa nsonga nt muli ba muwendo nnyo gye tuli. Abagenyi baffe mwenna, mukoze kya njawulo nnyo okweresa byonna ne mut ndigga ate ne mwetaba naffe olwa leero. Tusiimidde ddala, era tusuubira nt buli mwaka munaalumyusanga n'ennukuta Our Lady of Assumpt on Mitala Maria Parish Day. Mbaagaliza emikisa gya Katonda n'okujaguza obulungi; muyogeeyoge nnyo. Omubala: Tujjukire Tujaguze Twezze Buggya: Nga Tuzimba Mitala Maria Parish eyetengeredde!!!

 

 

 

 

free joomla templatejoomla template
Archbishop Lwanga is upset over people who work on Sunday.  It is embarrassing for people who never respect Sunday as God’s day to think of making money.
2018-08-31 07:35:33
OUR LADY OF ASSUMPTION - MITALA MARIA PARISH A Family Day  after 119 Years 25th October 1899 - 26th August 2018 Yogaayoga nnyo Our Lady of Assumption Parish Mitala Maria; osajjakudde!!!!
2018-08-28 08:53:33
 SOLEMN BLESSING OF THE MISSIONARIES OF THE POOR  Our Lady of the Poor Sisters Convent. 18th of August, 2018
2018-08-22 08:27:13
Missionaries of the Poor opens first ever convent in Uganda. The Missionary of the Poor has two other homes – Good Shepherd Home and Busega Home for the Children.The Archbishop of Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga has opened the first ever convent in Uganda for nuns of Missionaries of the Poor at Nalukolongo-Rubaga. 
2018-08-22 06:09:07
'Although he was principled, he was a dedicated and determined priest, which all of us should emulate in our service' Long-serving priest in Kampala Archdiocese, Fr. Pio Kitanywa was laid to rest at Nabbingo parish graveyard on Monday.
2018-08-14 08:33:54

Archdiocese calendar

loader
2018  Kampala Archdiocese