You are currently viewing Archbishop Dr. Cyprian Kizito Lwanga’s Homily on the Occasion of the Archdiocesan Day 2019
Kampala Archdiocesan Day 2019

Archbishop Dr. Cyprian Kizito Lwanga’s Homily on the Occasion of the Archdiocesan Day 2019

1. Okwaniriza

Abaagalwa ennyo, Abasaserdooti, Bannaddiini, abantu ba Katonda mwenna mu Ssaza ekkulu erya Kampala, n’essanyu lingi mbaaniriza era mbakulisa okutuuka ku lunaku lwaffe olw’Essaza, muyogeyoge nnyo!

2. Okwebaza

Omukama – Twebaza Omukama Katonda abakuumye ate n’abagabirira ebirungi eby’omwoyo n’eby’omubiri okuva lwe twakuza olunaku lw’Essaza omwaka oguwedde. “Mazima ddala Omukama asaana kwebaza kubanga mulungi nnyo era ekisa kye kya mirembe gyonna” (Zabbuli 136: 1).

Ntwala omukisa guno okusaasira abo bonna abafunye ebizibu ebitali bimu; tusaba Omukama abalambule, abakubagize era abagabirire mu byetaago byammwe byonna.

Abasaserdooti – Okuviira ddala ku ntobo yomutima gwange njagala okutuusa okusiima kwange eri Abasaserdooti bonna abaweereza mu Ssaza lya Kampala. Mwebale okuweereza abantu ba Katonda mu kwagala, mu kwemaliza ate ne mu ssanyu.

Bannaddiini – Mu ngeri y’emu ntuusa okusiima kwange eri Bannaddiini abasajja n’abakazi olw’obuweereza obulungi mu Ssaza lyaffe lino. Era njagala okuyozaayoza Basisters b’Ekibiina ky’Omutima Omutukuvu ogw’Omubeererevu Maria Omuddaabiriza – Ggogonya, okumaliriza obulungi olukiiko lwabwe Ttabamiruka (General Chapter) ate n’okufuna abakulembeze abaggya. Nneebaza nnyo akakiiko akavuddeko akabadde kakulemberwa Mother Anne Christine Kizza olw’obuweereza obulungi, ate ne njozaayoza n’okwaniriza Mother omuggya Mother Sr. Dr. Speranza Namusissi awamu n’akakiiko ke.

Abasomesa mu Parishes n’Abayigisa mu Masomero – Ntwala omukisa guno okusiima abasomesa bonna mu Ssaza, Bassebo ne Bannyabo mwebale okuyigiriza Eddiini.

Abakulembeze – Nneebaza nnyo abakulembeze bonna okuviira ddala ku bubondo okutuuka ku Ssabakristu w’Essaza. Bassebo ne Bannyabo mwebale okwagala n’okuweereza Eklezia wammwe.

Abakristu – Nneebaza n’abakristu bonna okuwagira ate nokwetaba mu butume bw’Eklezia.

 3. Omulamwa “Tujjukire, Tujaguze, Twezze buggya mu Kristu.”

Mu mwaka guno ogw’Eklezia, omulamwa gwe tutambuliddeko mu Ssaza gugamba nti, “Tujjukire, Tujaguze, Twezze buggya mu Kristu.”

A. TUJJUKIRE

Tujjukira ebirungi enkuyanja Omukama by’atukoledde mu Eklezia w’Essaza lya Kampala, naddala mu maka, amasomero, mu Bisomesa, Parishes, n’ebitongole eby’enjawulo.

Omukama by’atuyisizzaamu ne by’atutuusizzaako omwaka guno

SECAM Jubilee of 50 Years – Jubileewo y’emyaka 50 egy’Olukiiko Ttabamiruka olw’Abasumba b’amawanga g’Africa ne Madagascar (SECAM – Symposium of Episcopal Conferences of Africa and Madagascar). Emikolo gya Jubileewo twagikuza bulungi era nga gyaggulwawo wano ku Lutikko e Lubaga nga 21/7/2019 ate ne tugiggalawo nga 28/7/2019 e Namugongo ku kiggwa ky’Abajulizi ba Uganda. Njagala okwebaza ennyo nnyini ddala ebitongole eby’enjawulo awamu n’abantu ssekinnoomu abaawagira enteekateeka z’olukiiko luno ate n’emikolo gya jubileewo. Mwebale omutima omwagazi ate n’obuwagizi bwe mulaze eri Essaza lya Kampala. Temujjanga okwo!

Munyonyo okufuuka Minor Basilica – Nga twakamaliriza entujjo za SECAM twafuna omukolo ogwakulemberwa Cardinal Robert Sarah, ngekiggwa kyAbajulizi e Munyonyo kifuulibwa Minor Basilica; era kati Uganda tuli ba mukisa, anti tulina Minor Basilica ssatu (Basilica of the Blessed Virgin Mary Lodonga in the Diocese of Arua; Basilica of the Uganda Martyrs Namugongo ate ne Uganda Martyrs Minor Basilica Munyonyo) so ng’ate mu Africa ziri 23.

Olunaku lw’Essaza, lwajja lutya?

15th August 1966 – Pope Paul VI now Saint erected a New Archdiocese of Kampala emanating from 2 Dioceses within Kampala city: Kampala Diocese and Lubaga Archdiocese

The first Archbishop of Kampala was His Grace Archbishop Kiwanuka Emmanuel Nsubuga (1966 – 1990).

He was succeeded by His Grace Archbishop Emmanuel Wamala (1990 – 2006) and succeeded by His Grace Dr. Cyprian Kizito Lwanga

B. TUJAGUZE

Cardinal Wamala – Omwaka guno nga 26/11/2019 Jjajjaffe Emmanuel Kalidinaali Wamala aweza emyaka 25 bukya afuuka Kalidinaali ate nga 15th December 2019 aweza emyaka 93 egy’obukulu. N’essanyu lingi njozaayoza Jjajjaffe Kalidinaali ate ne mmwebaza omulimu omulungi era omunene ddala gw’atukozeemu, ate era ng’akyatusabira.

Bishop Albert Edward Baharagate – Mu ngeri yemu nyongera okuyozayoza Omusumba omuwummuze owe Hoima Albert Edward Baharagate eyajaguza emyaka 50 ng’Omwepiskopi omwaka guno nga 1/8/2019. Tumukulisa nnyo okutuuka ku jubileewo ey Obusumba ate ne tumwebaza obuweerez bulungi naddala mu Ssaza lyaffe erya Kampala.

New Priests – Ntwala omukisa gwe gumu okuyozaayoza Abasaserdooti abagole 13 ab’Essaza ate n’abe’kibiina kya ba Spiritan Fathers 2 be twafuna nga 10/8/2019 wano ku Lutikko e Lubaga; mukulike okutuuka ku kkula eryo. Ate Omudyakoni Andrew Brian Mayega twongera okumukwasa Omukama amuwe ekiwummulo ekyemirembe.

2 New Parishes – Nnina essanyu okubategeeza nti mu mwaka guno tuguddewo mu butongole Ebifo bibiri: St. Denis Ssebuggwawo Konge -Lukuli Parish ate ne All Saints Catholic Parish Kibibi; era nyongera okukulisa Abasaserdooti n’abakristu mu bifo ebyo.

Uganda Martyrs Guild Building – Amawulire amalala ag’essanyu, ga kumaliriza kwekizimbe kya Uganda Martyrs Guild wano e Lubaga; era nneebaza nnyo abavujjirizi abadduukiriridde omulimu guno gwettendo.

C. Twezze Buggya

Nga bwe baalugera nti, ‘gwaka misana kaakiro tabulamu”, kale nno mu Ssaza lya Kampala tulina ebitusoomooza;

a)  Eby’Omwoyo

·   Bangi mu nsangi zino baddiridde mu ddiini ate abamu bawabye n’abalala ne bagiviirako ddala.

·   Okwesiga ebitaliimu

·   Obugwenyufu, Ettemu, Obubbi n’emize emibi mingi byeyongera buli lukya.

Twetaaga okwekebera, twepime, tugolole empisa zaffe

b) Eby’Omubiri

·   Obwavu obufumbekedde mu maka gaffe. Ku nsonga eno mbakubiriza mubeere bantu bakozi nnyo abeezimba ate ne muzimba n’Eklezia wammwe. Era mufube okulaba nti ensaasaanya yensimbi tesukka nyingiza yammwe.

·   Endwadde n’eby’obulamu

Twezze buggya, Amasomo galeero gatusaba twezze buggya

Today the readings echo God as the Just Judge who favors the humble. Our society today is going too secular, kicking God out, forgetting that God rewards human beings according to their deeds (Rom 2:6).

In the First Reading (Sirach 35:12. 16-19;), Sirach exalts us on the Justice of God towards those forgotten by society, especially the poor, the unjustly condemned, the orphans, widows, the sick, in fact the weak and forgotten of society. Let us remember that before God, we are all equal. Let us be like God who treats indifferently.

Second Reading (2 Tim 4, 6-8. 16-19), Paul having done his duty perfectly well awaits firmly good judgment from the hands of the Just judge. Let us live well in fear of God, in humility, and according to His holy will as this will give us confidence to face Him, the Just Judge. Living righteous lives leads us to heaven.

The Gospel from Luke 18, 9-14 reminds us that, it is God who knows all our intentions, actions and inner lives unknown to the society. It is not us to judge others, it is only God to judge. 

4. Okufundiikira

Nga tukuza olunaku lwaffe olw’Essaza olw’Omwaka guno nyongera okubakubiriza okufuna Amasakramentu, okwetaba mu Bitambiro bya Missa eyo ku Parish zammwe buli lunaku, okwekwasa nyaffe Bikira Maria nga tusoma Sapule. Twesingire Omutima Omutuuukirivu ogwa Yezu, Tujjumbire okusoma Essaala awaka; Essaala ez’okumakya, ez’akawungeezi, Essaawa Entukuvu, Ekkubo ly’Omusaalaba ate n’okukola ebikolwa eby’ekisa.

Omwaka ogwa 54 gwetutandika olwaleero tusabe Omukama atwongere obulamu obw’omwoyo n’omubiri ate atujjuze Okukkiriza, Okusumbira n’Okwagala (1 Cor. 13:13)

Mbagaaliza olunaku olulungi n’okujaguza obulungi

Omukama abawe Omukisa!

Kampala Archdiocesan Day 2019
Kampala Archdiocesan Day 2019

Leave a Reply