You are currently viewing Obubaka Bwa Chancellor Ku Lunaku Lw’omutuukirivu Agnes

Obubaka Bwa Chancellor Ku Lunaku Lw’omutuukirivu Agnes

OBUBAKA BWA CHANCELLOR KU LUNAKU LW’OMUTUUKIRIVU AGNES ...OMUWOLEREZA W’EKIFO KYA KIBUYE-MAKINDYE NGA 23/01/2022

Banna Kibuye Makindye, abantu ba Katonda mwenna mu St. Agnes Parish, mbalamusizza era mbeebaza okunyweza okukkiriza. N’essanyu lingi mbakulisa okutuuka ku lunaku lw’Omuwolereza w’Ekifo kyammwe. Twebaza Omukama Katonda abakuumye ate n’abagabirira ebirungi eby’omwoyo n’eby’omubiri okuva lwe mwakuza olunaku lw’Ekifo omwaka oguwedde.

Ntwala omukisa guno okuyozaayoza ate n’okwebaza Omukulu w’Ekifo Rev. Fr. Joseph Lugobe n’omumyuka we Rev. Fr. John Mary Walugembe olw’obuweereza obulungi mu kifo ky’e Kibuye-Makindye. Mwebale kuweereza n’obumalirivu ate n’okwagala, nga mulangirira Evanjiri ya Kristu. Nga mwekola omuwolereza wammwe eyajjula okwagala Kristu, mbasaba munyiikirire okuyigiriza Ekigambo, mu budde bwonna ne mu mbeera zonna, obulamu bwammwe bwe butyo bube lugero lw’Amawulire agasanyusa eri abo bemubeera nabo okuviira ddala mu maka ne mu Bubondo bwammwe, anti, “okwagala kwa Kristu kutuwujja” (1Cor 5:14). Mu ngeri y’emu ntuusa okusiima kwange eri abakulembeze bonna okuviira ddala ku Bubondo okutuuka ku Ssabakristu w’Ekifo. Bassebo ne Bannyabo mwebale okwagala n’okuweereza Eklezia wammwe. Nneebaza n’abakristu bonna okuwagira ate n’okwetaba mu butume bwa Kibuye-Makindye Parish.

Baganda bange muleme kwerabira birungi byonna Omukama by’abakoledde era mujaguze. Ate olwo mwezze buggya, mu mwoyo ne mu mubiri. Omulamwa gw’Essaza lyaffe ogw’omwaka guno guvuga nti, “Totya, situka, kwata olunnyo lwo otambule” (Mk 2:11). Wadde nga tusoomoozebwa mu bingi naddala ekirwadde ki Kolona n’ebizibu bye kireese, tuleme kutya, Kristu atugamba tumutunuulire, atuzzeemu amaanyi era atusobozese okutambulira mu mayengo g’ensi eno ejjudde okutya. Muleke Omukama ayongere okubazza obuggya nga munyikirira Ekitabo Ekitukuvu ne Katekisimu awamu n’okufuna Amasakramentu mubeerere ddala bajulirwa ba Kristu mu ngeri esingawo, nga mutegeera bulungi era nga munyonnyola abalala ebyo byetukkiriza.

Mbaagaliza okujaguza obulungi ng’Omutuukirivu Agnes, omuwolereza wammwe y’empagi luwaga kwe musibidde.

Nze omuwereza wammwe mu Kristu,

Fr. Pius Male Ssentumbwe
CHANCELLOR

Leave a Reply