Obubaka Bwa Kitaffe Ssabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga mu Budde Buno Obw’ekisiibo 2021

Obubaka Bwa Kitaffe Ssabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga mu Budde Buno Obw’ekisiibo 2021

Archbishop Cyprian Kizito Lwanga

Nja kusituka nzireyo eri Kitange(Luka. 15:18) 

Ab’oluganda abaagalwa,

Nga tutandika obudde buno obw’ekisiibo, Omukama addamu okutuyita twekebere n’okulaba wa ekitangaala kya Kristu mu bulamu bwaffe we kibadde kitandise okuzimeera! Omulimo guno gwe nnyini obudde buno kye butegeeza. Tuddamu okwekenneenya obulamu bwaffe obw’omunda, olwo ne bwe tuba tuseeseetuse ku mukwano gwa Katonda tulaba bulabi nti kano ke kadde okuddamu ensa nga omwana omusaasaanya bwe yakola (Laba Lukka. 15:17).

Omulimo guno ogw’okwekenneenya obulamu n’amayisa gaffe, Klezia gw’atuyitira okusimbako essira mu budde buno naddala nga twegayirira, tukola ebikolwa eby’ekisa ate okwo ssaako okusiiba.

Okwegayirira

Okwegayirira gwe musingi gw’obukristu. Y’ensulo mwe tuyita okugenda nga tujjula obulamu bwa Katonda. Nga Omutuukirivu Sister Faustina bw’agamba, Omwoyo gwekemba na kitala kya kwegayirira mu ntalo zonna…omwoyo omulongoofu era omulungi guteekwa okwegayirira, ekitali ekyo obulungi bwagwo buseebengerera…omwoyo omwonoonyi, ogutubidde mu bibi guteekwa okwegayirira, gusobole okuddamu okusituka. Tewali mwoyo gutateekeddwa kwegayirira, kubanga buli nneema ejja mu mwoyo eyita mu kwegayirira (D.146).

Mu budde buno obw’ekisiibo, tusingewo nnyo mu kwegayirira Omukama. Tuzze bupya obweyamo bwaffe eri Katonda. Tumwetowalize, oyo omutonzi waffe, tukkirize emisango gyaffe, tumusabe ekisonyiwo olwo ate tudde mu kkubo ery’obutuukirivu. Omukama bulijjo mwetegefu okuwulira essaala zaffe, Abantu bange abayitibwa erinnya lyange bwe baneetowaza, ne banoonya amaaso gange, ne baleka amakubo gaabwe amabi, olwo mu ggulu nja kubawulira, mbasonyiwe ekibi kyabwe era mponye ensi yabwe (2 Ebyafaayo 7:14). Katonda alina eky’okuddamu ku buli kitusoomooza mu bulamu. Y’alina ekisembayo mu buli kintu. Obudde buno obw’ekisiibo tubweyambise okuddamu okulaba Omukama ono nga bw’atwagala ennyo okuzaama

Okusiiba

Okuva edda n’edda, ekikolwa eky’okusiiba ky’abo abanoonya okubonerera n’okumenyeka mu mutima okudda eri Katonda Nnannyini biragiro ebiba bimenyeddwa (Okuva. 34:28; Zabbuli. 69:10; Etteeka ogwokubiri. 9:3-5). Okusiiba era kuzze oluusi kutambulira wamu n’okwegayirira nga akabonero ak’okwewerayo ddala eri Katonda, nga bwe tulinda by’ayagala bikolebwe (cf. Ebikolwa. 13:3-4). Mu budde buno obw’ekisiibo tuyitibwa okwenyigira mu kikolwa kino eky’okusiiba nga akabonero ak’okwewerayo ddala eri Mukama waffe n’okubonerera ebibi byaffe.

Lino nalyo kkubo mwe twanukulira eddoboozi ly’Omukama atuyita, “Nakati mudde gyendi n’omutima gwammwe gwonna, nga musiiba, mukuba ebiwoobe nga musinda” (Yoweri 2:12). Okusiiba kwaffe kututuusa ku maziga g’okubonerera kwaffe. “Ffenna twayonoona ekitiibwa kya Katonda ne kikendeera mu ffe” (Rom. 3:23; cf. also. Is. 53:6). Nga Petero, naffe twegaanye Omukama nga tumenya ntakera endagaano z’obulamu bwaffe mu Kristu. Sso ate nga yadde biri bityo, Yezu tatuggyako liiso. Amaaso gaffe amaswavu olw’okwonoona bwe gasisinkana n’eriiso lya Kristu, nga bwe gwali ku Petero, twandikaabidde ebibi byaffe mwe twayonoonera nga tutiitiira ne mu kunoonya ebitatukaluubiriza.

Okutoola ku byaffe tuyambe abalala

Kampegaano, ensi ekyabikkiddwa omululu gw’okwefaako fekka. Omululu guno sitaani y’agenda agusiga, asobole okutwerabiza omwoyo gw’obuterekaamu ku lw’abalala, okusimbye ekinyusi ky’obulamu bwaffe nga Abakristu. Okutoola ku byaffe tuyambe abalala si kintu kya kweweweezaako bweweweeza, tuwulire bulungi muli munda muffe. Wabula, omulimo guno gusibukira ddala mu kwagala-Okukristu. Kiva mu kwevaamu nga tulabira ku Kristu, “Tewali alina kwagala kusinga kuno, oli okuwayo obulamu bwe okubeera mikwano gye” Jn. 15:13).

Obudde buno obw’ekisiibo, nga tulabira ku Kristu mu mutima ogw’okwagalana, twandibadde beetegefu okuwayo kyonna ekisoboka ku lw’abala. Tuteekwa kwekemba twekenneenye obwetaavu bw’abannaffe. Nga Paapa Francis bwe yagamba mu bubakabwe obw’ekisiibo 2020, tuteekwa okwekakamula, twekembe mu kuzimba ensi esingawo obulungi, naddala eri abo abatene n’abanyigirizibwa mu ngeri ezitali zimu.

Nnyaffe B. Maria ne Kitaffe Yozefu Omutuukirivu batusabira

Nga tutandika obudde buno obw’ekisiibo, twongere okwettanira Nnyaffe B. Maria. Ono ye Nnyaffe! Tumukowoolenga lunye okutusabira, nga naffe bwe tulwana okumufaanana, mu kuba abesigwa, abeetowaze, abawulize era abagumiikiriza. Eno y’endabirwamu y’okukkiriza okutuufu (Laba. Lukka. 1:45). Nga Abakristu, tumweyunenga lunye naddala mu lugendo lwaffe luno olw’ekisiibo. 

Ekisiibo kino kitusanze mu mwaka gwa Kitaffe Yozefu Omutuukirivu, Kitaffe Paapa Francis, gwe yalangirira nga 8 December 2020, mu bbaluwa ye, Patris Corde (N’omutima gwa Taata). Nga tuyigira ku buwulize bwa Kitaffe Yozefu Omutuukirivu (Matayo 1:20-24; 2:13-15), twezze buggya mu mutima guno ogw’okuwulira Katonda nga tukwata ebiragiro bye mu budde buno obw’ekisiibo. Nga Kitaffe Omutukuvu Paapa Francis, bw’agamba, “Mu buli mbeera, Yozefu yaddangamu nti ‘Nzuuno’, era nga ne Nnyaffe B. Maria bwe yakola nga abuulirwa Malayika Gabrieli era nga ne Yezu bwe yakola mu nnimiro e Getesmani (Patris Corde, No. 3)

Okuwumbawumba: Tutandike bupya mu Kristu

Ng’obudde bw’ekisiibo buno butandika, tuddemu okwezza obuggya mu Kristu. Tuyitibwa Bakristu kubanga mu Kristu mwe muli ebyaffe byonna. Weetuli lwa kubeera ye era mu ye buli omu kuffe mw’ajja obulamu. Obulamu bwaffe buno obw’okunsi lugendo olututuusa mu Ggulu. Kya nkizo okunyweza kye tuli mu Kristu nga tekuli bbala lisiigiddwako olwa bino eby’okunsi ebiyita obuyisi. Nga bwe tubadde tutaataaganyemu olw’obunafu bwaffe, obudde buno obw’ekisiibo butubeerere bwa kwezza buggya mu Kristu, Olupimo lw’obulamu bwaffe. Mukama abampeere Omukisa, mu budde buno obw’ekisiibo, era akadde kano kabeere ka kudda buggya munda muffe, n’okutabagana ne Katonda wamu ne bannaffe.

†Cyprian Kizito Lwanga
SSAABASUMBA WA KAMPALA

Leave a Reply