Abaagalwa ennyo, abantu ba Katonda mwenna mu Our Lady of Mt. Carmel Busega Catholic Parish. N’essanyu lingi mbaaniriza era mbakulisa okutuuka ku lunaku lwammwe olw’ekifo, muyogeeyoge nnyo!
Atenderezebwe Omukama olw’ebirungi byonna. Mazima ddala Omukama asaana kwebaza kuba mulungi nnyo era n’ekisa kye kya mirembe gyonna (cf. Zabbuli 136:1). Bangi abafunye ebizibu ebitali bimu; tusaba omukama abakubagize era abadduukirire mu byetaago byammwe byonna.
Nneebaza nnyo Omukulu w’ekifo, Fr. Vincent Kasirye, wamu n’abasaserdooti b’aweereza nabo mu kifo kino; mwebale okuweereza abantu ba Katonda mu kwagala, mu kwemaliza ate ne ssanyu. Mu ngeri y’emu, ntuusa okusiima kwange eri abakulembeze bonna okuviiira ddala ku Bubondo okutuuka ku Ssabakristu w’ekifo. Bassebo ne Bannyabo, mwebale okwagala n’okuweereza Eklezia w’Omukama ate era owammwe. Nneebaza mwenna olw’okuwagira era n’okwetaba mu butume bwa Busega Parish. Mbeebaza n’okubakulisa ebirungi bye mutuuseeko ng’ekifo newakubadde tuli mu kusomoozebwa olw’ekirwadde ekya kolona, naye era mukoze kawefube okulaba ng’Ekifoo kyammwe kisigala kitambula bulungi; naddala mu by’eddiini ne mu by’enkulakulana nga mulafuubana okusitula embeera z’abo abeetaaga omwasirizi.
Nga tukuza olunaku lw’ekifo, mbasaba twongere okwebulirira ku mulamwa ogw’Essaza lyaffe ogutugumya mu bisoomooza byonna byetusanga mu bulamu obwa bulijjo. Ggwe wamma, “Totya Situka Twala Olunnyo lwo, Otambule” (Mariko 2:11). Banna Busega mbasaba mujjukirenga Omukama gy’abaggye, byabayisizaamu era ne by’abakoledde. Omukama yeebale.
Mbeebaza nnyo ebirowoozo ebirungi bye mwaweereza mu Synod Kitaffe Omutukuvu Paapa Francis gye yatusaba okutambuliramu emyaka gino esatu nga twegolola. Tutandikirewo okutambulira awamu mu ‘Bumu’ nga bwatusaba. Tuwuliziganye bulungi. Buli omu yeetowaze awulirize munne. Abakulembeze ku mitendera gyonna okuviira ddala ku Basaserdooti okutuuka ku Kabondo tuwulirize n’obwetowaze be tukulembera. Abatwalibwa tuwulirize abatukulembera. Abakulu tuwulirize abato nga balina ensonga gye batugamba. Abato tuwulirize bakulu baffe. Okutambulira awamu tutyo kijja kutuyamba okutambulira awamu nga tuzimba omubiri gwa kristu.
Mbakuutira okwongera okwagala n’okwekwasa omuwolereza wammwe Biikira Maria ow’okulusozi Calmelo.
Mbagaliza okujaguza obulungi n’emikisa gy’omukama, Bikira Maria ow’okulusozi Calmelo bulijjo abawolereze.
Nze abaagala era abasabira bulijjo,
†Paul Ssemogerere
SSABASUMBA WA KAMPALA