Kampala Archdiocese

Welcome to the Official Website of Kampala Archdiocese

As you visit our website, you will understand better the scope of our mission to live and proclaim the Gospel of Our Lord Jesus Christ through Grassroot Evangelization.

Add Your Heading Text Here

Previous
Next

Obubaka bwa Ssaabasumba Paul Ssemogerere ow’Essaza lya Kampala (58 Years of Kampala Archdiocese)

Abaagalwa ennyo, abantu ba Katonda mwenna mu Ssaza lyaffe lino ekkulu ery’e Kampala mbakulisa okutuuka ku lunaku lw’Essaza lyaffe lino olw’omulundi ogwa 58 bukya libangibwawo nga 05 Augusto 1966. Tuzze okukuza n’okwoleka obumu bwaffe nga eklezia atambulira awamu. Tuzze okuddamu okwatula okukkiriza kwaffe mu ‘Eklezia, Omu, Omutukuvu, Katolika eyava mu Batume’ era mbeebaza okunyweeza okukkiriza okwo wakati w’ebisoomooza ebibaawo mu bulamu bwaffe, naddala mu maka gaffe ate ne ku mirimu gye tukola. Mu byonna twebaza Omukama Katonda atukuumye ate n’atugabirira ebirungi eby’omwoyo n’eby’omubiri okuva lwe twajaguza olunaku lw’essaza omwaka oguwedde.

Nga tukuza olunaku luno, ebirowoozo byaffe biddayo mu kukuza ennaku bweziti mu myaka egyakulembera, ne bakristu bannaffe bwe twakunngananga nabo, abamu Omukama beyayita, tumusabe abawummuze mirembe. Ntwala omukisa guno okwebaza abasaaserdooti bonna ne Bannaddini abaweereza mu ssaza lyaffe mu bigo byonna 73 ebikola Essaza lyaffe lino. Mwebale kuweereza n’obumalirivu ate n’okwagala, nga mulangirira Evanjiri ya Kristu mu Ssaza lyaffe lino. Mu bigambo bya Paulo Omutume mbakuutira munyiikirire okuyigiriza Ekigambo, mu budde bwonna ne mu mbeera zonna (2 Timoteo 4: 2), obulamu bwammwe bwe butyo bube lugero lw’Amawulire agasanyusa eri abo bemubeera nabo okuviira ddala mu maka, mu Bubondo ne mu bisomesa byonna.

Mu ngeri y’emu ntuusa okusiima kwange eri abakulembeze bonna okuviira ddala ku bubondo, mu bisomesa okutuuka ku lukiiko lw’abakulembeze ku Ssaza. Bassebo ne Bannyabo mwebale okwagala n’okuweereza Eklezia. Nneebaza abasomesa mu masomero gaffe gonna n’amatendekero ag’enjawulo, n’abakristu mwenna okuwagira ate n’okwetaba mu mirimu gy’obutume mu Ssaza lyaffe lino nga tutambulira wamu mu mutima ogwa Synodalite, Eklezia atambulira awamu nga Kitaffe Paapa Francis bwe yatusaba.

Nga tukuza olunaku lw’Essaza lyaffe luno, mbasaba twongere okwebuulirira ku mulamwa ogw’essaza lyaffe ogutukubiriza nti: “Ffe ababatize tutambulire wamu nga twenyigira mu mirimu gy’obutume” (Efezi 6:1-16). Tukyalina omulimu ogw’okuyiga okutambulira awamu mu bigo byaffe, ku mirimu gyaffe egy’obutume ne mu nkolagana zaffe mu mbeera ezitali zimu. Mbakuutira nti nga tugenda mu mwaka omutukuvu, 2025, twongere okwegunjula mu kutambulira awamu, mu bulamu bwaffe, nga abantu ba Katonda. Mu ngeri ey’enjawulo mbeebaza nnyo obumu n’okutambulira awamu bye twolese mu mirimu gy’obutume gyonna ate n’obuwagizi bwonna naddala obwa SAAFU. Mwebale nnyo. Omukama abawe omukisa.

Mbakuutira mwettanire okwezza obuggya naddala nga munyikirira okusoma Ekitabo Ekitukuvu ne Katekisimu awamu n’okufuna Amasakramentu awo musobole okujulira Kristu mu ngeri esingawo, nga mutegeera bulungi era nga munyonnyola abalala ebyo byetukkiriza.

Mbaagaliza okujaguza obulungi nga Abajulizi ba Uganda y’empagi luwaga kwe tusibidde. Nnyaffe Bikira Maria atuwolerezenga bulijjo. Nze Ssabasumba wammwe abaagala era abasabira bulijjo.

++PAUL SSEMOGERERE


ARCHBISHOP OF KAMPALA

Our History

Lubaga Cathedral - Old Archive Photo

The Roman Catholic Church in Uganda is part of the worldwide Roman Catholic Church, under the spiritual leadership of the Pope in Rome. There are an estimated 13,406,764 million Catholics – about 39.3% of the total population of Uganda. The Roman Catholic Church in Uganda is comprised of four Ecclesiastical Provinces:

  • Kampala Ecclesiastical Province comprised of Kampala Archdiocese and the Dioceses of Kasana-Luweero, Kiyinda-Mityana, Lugazi and Masaka.  
  • Gulu Ecclesiastical Province comprised of Gulu Archdiocese and the Dioceses of Arua, Lira and Nebbi… Read More

Events

The parish is the core of Catholic life in our local communities. In every parish of our Archdiocese, the impact of the Covid-19 pandemic has been particularly acute. Our collective mission to spread the Gospel is challenging without a financial lifeline. It therefore important that our parishes and priests receive the offertory support they need to remain operational through this time without in-person weekly Masses.
You can support a parish today by clicking the donate button below. Thank you for your hopeful witness of the Gospel as you bring in word and action God’s invitation to all those suffering around us.

Find a local parish or school

Homilies

Which Child Am I?

“Which child am I?” In the various vocations, duties and responsibilities that God has entrusted to us, we daily need to re-examine how dutiful we are in the vineyard of the Lord.

Read More »

Will You Also Betray Jesus?

The worst part of the betrayal was that Jesus was betrayed by one of His own apostles. This hits hardest when Jesus Christ Himself says, “But see, the one who betrays me is with me, and his hand is on the table.” (Luke 22:21)

Read More »

Who Is Jesus Christ To You?

This is the time for us, for each one of us to look deeply into his or her life and give an answer to the questions of Jesus Christ most especially the second question, “And you, who do you say that I am?” (Luke 9:20).

Read More »

Why Do You Love Jesus? Why Do I Love Jesus?

Why should we pray for purity of intention? Someone may do something good (on the outside it is good) but when the intention, the heart with which it is done is not good. This is the experience of Herod in the Gospel today.

Read More »