OBUBAKA BWA KITAFFE SSABASUMBA KU LUNAKU LW’EKISOMESA KYA KALAALA OMUTUUKIRIVU NGA 02/10/2022
Abaagalwa ennyo, abantu ba Katonda mwenna, mbalamusizza nnyo era ne ssanyu lingi mbakulisa okutuuka ku lunaku lw’Ekisomesa kyaffe ekya Kalaala Omutukirivu. Twebaza Omukama Katonda abakuumye ate n’abagabirira ebirungi eby’omwoyo n’eby’omubiri…