The Miracle of Revokato Kalema
Na kino Roma yakyekkaanya, Naye n’asibira ku kiri kyokka, nti Kimala. Ku kyalo Kakuuto, mu Ogombolola ya Mut. V, Buddu, nga 3 February 1959, kwazaalibwako omwana mulenzi. Yazaalibwa agongobadde: Amagulu nga gewese, nga bw’olaba omwana gwe batuuzizza; yenna ng’agonda ng’ataliimu ggumba.
Kw’ekyo n’agattako obunaku. Nnyina yali ky’ajje amusuulewo, n’afa. Waayita mbale, ne kitaawe ne lumuvumbika ettaka. Akaana ako akawere ne kasigala ne Jjajja waako, omukazi omukadde, omunaku ddala, Klara Kyofuna; mu kifulukwa obw’omu. Ab’ekika n’abekyalo, omaze okumanya bwe baali bateekwa okumulowoozaako, n’okumuyisa. “Aliko olumbe”!!! Ani anaamusemberera? Yabeeramu N’EKIRABO kye.
Nga 9 June 1961, lwali lunaku lwa Mutima gwa Yezu, “Ogujjudde ekisa n’okwagala, Ekikubagizo ky’abanaku, essuubi ly’abazirika, Essanyu ly’Abatuukirivu bonna”.
Abannabiikira b’e Bigada Parish, kwe kwesitula, ne bagenda bayoolayoola AKAANA ako ne bajja bakassa mu Ekleziya, awali Ebisigala by’Abajulizi.
Ne batandika Novena, bo n’abaana baabwe abawala ab’essomero. Nga bawanjagira Abazira bOmukama, n’okukkiriza kwonna, n’okwesiga okutaliimu kubuusabuusa. Abajulizi boolese ekisa kyabwe n’obuyinza bwe balina eri Katonda, nga basitula, olw’essaala zaabwe, AKAANA ako, katambule. Ekleziya ayimeko okubalanga mu lubu lw’Abatuukirivu.
Kye baasaba baakifuna mu bujjuvu.
Akaana baakatereezanga awo mu maaso g’Abajulizi, ku nkya; ne bagenda. Baakomangawo ku ssaawa mukaaga n’ekitundu, okukaggyawo, bakawe
eky’emisana. We baakalese we baakasanganga.
Ku lunaku olw’omukaaga mu Novena yaabwe, omwana, eyalabiriranga Revokato, bwe yakanonayo ku ssaawa mukaaga n’ekitundu, nga bulijjo, yakasanga bweru w’Ekleziya ku madaala, nga kefulumizza kokka; kaagenda kewalula.
Essaawa okuwera ekkumi, bagenda okulaba ng’omwana asituka; ng’agenda atambulira ku kisenge mu nju; ekyaddako amangu ago nga kwesimba butengerera; kutambulira ddala; kutema misinde.
Novena yatandika 9. Nga 14 June omwana lwe yatambula, omwaka 1961. Na buli kati, Revokato Kalema agenze asajjakula; ali mu Ssomero, ayiribya misomo.