- Yazaalibwa 20 December 1853 mu Bufransa.
- Yafuna Obusaserdoti 2.4.1877 nga wa myaka 24 egy’obukulu.
- Yajja mu Uganda 17.2.1879 nga wa myaka 26 egy’obukulu.
- Yali mu kibiina ky’abo abeewayo okubunya eddiini mu Africa- Missionaries of Africa – Mr. ekyagunjibwa Cardinal Cadinal Larvigerie mu 1868. We yafunira obusaserdoti nga kyakamala emyaka 11. Cardinal yali awulidde eby’omuzungu omuvumbuzi Livingstone n’omulanga gwa Kabaka Leopold owa Belgium.
Mapeera baamutuma wamu ne banne bana:
- Fr. Leo Livinhac
- Fr. Leo Barbot
- Ludovico Girault
- Bro. Amans
- Fr. Lourdel
Baali ku Lutikko e Lubaga.
Lwaki ye gwe baalonda asooke okujja mu Buganda?
Yali mwangu mu nkolagana n’abantu. Ayiga mangu ennimi. Ebizibu mu kutuuka ku Kabaka, Mapeera ne Amansi baamala week bbiri e Kitebi nga tebannayitibwa kweyanjula wa Kabaka.
Ekiro baabakumiranga ddala, sikulwa nga baleeta emitawaana. N’okwekyusa ku kiriri nga beegendereza nnyo abakuumi baleme kuwulira. Kabaka baamulaba 8 March 1879. Olwo ng’aJi ku lusozi Lubaga, kati awali Klezia enkulu (cathedral).
Obuzibu:
Eggulolimu, Kabaka nga banamulaba ng’enkya Makaayi yayitibwa Omutanda n’amubuuza Mapeera mukkirize asigale muno? Ko Makaayi, nedda kuba Paapa gwe bayita Kabaka waabwe, ggwe olwo oba asigadde wa?
Basinza omukazi Maria gwe bay ita Namasole wabwe. Ebyo Kabaka teyabikkiriza. Makaayi yatiisatiisa okuleka ensi eno, ko Kabaka; genda naye tongoba ko bagenyi bange.
Era Kabaka yayitako abalaguzi ba lubaale Mukasa oba Mapeera ne banne abakkirize okusigala mu nsi n’okusomesa. Mukasa lubaale yagamba:
okukulagula obulungi abantu bonna bamale kuvaamu, wasigalewo batono ddala. “Ekigambo kye ngenda okukulagula kikulu: mala kumpeera nte 99, abaddu 99, emitwalo gy’ensimbi 9, olwo ndyoke nkulagule.” Kabaka yakiraba nti baali bazze kumufunamu, n’abagoba (Ddiba J, pg 79) lwali 29 June 1879.
Baabakettera emyezi esatu balabe oba ddala ekiro tebaletayo bakazi mu nju zaabwe.
Kino kyasikiriza abaganda bangi nga bagamba nti bano betukakasizza nti tebawasa, Katonda waabwe atekwa okuba nga mukulu anti ne bakabona mu Buganda tebawasa.
Eddiini ya Mapeera bangi kye kimu ku kyagibasomesa.