You are currently viewing OBUBAKA BWA KITAFFE SSABASUMBA KU LUNAKU LW’EKISOMESA KYA KALAALA OMUTUUKIRIVU NGA 02/10/2022

OBUBAKA BWA KITAFFE SSABASUMBA KU LUNAKU LW’EKISOMESA KYA KALAALA OMUTUUKIRIVU NGA 02/10/2022

Abaagalwa ennyo, abantu ba Katonda mwenna, mbalamusizza nnyo era ne ssanyu lingi mbakulisa okutuuka ku lunaku lw’Ekisomesa kyaffe ekya Kalaala Omutukirivu. Twebaza Omukama Katonda abakuumye ate n’abagabirira ebirungi eby’omwoyo n’eby’omubiri okuva lwe mwakuza olunaku lw’Ekisomesa kino emyaka ebiri emabega.

Twebaza Omukama Katonda abakuumye nga mukyali balamu ate n’abagabirira ebirungi eby’omwoyo n’eby’omubiri mmwe abasobodde okubeerawo nga tukuza olunaku lw’Ekisomesa kyaffe omwaka guno. Bangi abatugenzeeko oboolyawo be twandibadde nabo kati ku lunaku luno.

Nga tutambulira ku mulamwa gwaffe ogw’Essaza Ekkulu erya Kampala ogugamba nti, “Totya, Situka, Twala Olunnyo lwo otambule” (Mk. 2:11), tusaana tujjukire era tweebaze ababaka ba Kristu, abasaaserdooti bonna naddala Omukulu w’Ekifo ky’e Bwaise Rev. Msgr. John Baptist Ssebayiga n’omumyuka we Rev. Fr. Kizito Muftimukiza n’Abasaaserdooti bonna ababayambako mu Kigo ky’e Bwayiise olw’obuweereza obulungi ate naddala mu Kisomesa kya Kalaala Omutuukirivu. Mwebale kulangirira Vanjiri ya Kristu mu kwagala, mu ssanyu ate n’obumalirivu.

Nneebaza omusomesa avunanyizibwa ku Kisomesa kino Mw. Yozefu Kagimu, weebale kuyigiriza Ddiini. Mu ngeri y’emu ntuusa okusiima kwange eri abakulembeze bonna okuviira ddala ku Bubondo omukaaga obuli mu Kisomesa kino okutuuka ku Ssabakrsitu w’Ekisomesa Mw. Ssengendo Joseph Mugagga. Bassebo ne Bannyabo mwebale okwagala n’okuweereza Eklezia wammwe. Nneebaza n’abakristu bonna okuwagira ate n’okwetaba mu butume bw’Ekisomesa kino.

Bannakalaala mwenna musaanidde okujjukira ebyo byonna Katonda Kitaffe byabakoledde mu myaka egiyise. Musaana mujaguze ate musagambize olw’ekisa Omukama kyabagiridde. Mujaguze olw’ebyo Omukama by’akoledde Ekisomesa kyammwe okuva lwe kyakubibwa. Mu byonna ebituukiddwako mu Kisomesa kino, biyambye okutumbula Obukristu anti abantu beeyongede okusoma eddiini era nga bajjumbira n’okufuna Amasakramentu.

Nga mulafuubana okukwata amakubo g’Omukama, musaanye okwezza obuggya mu byonna nga musookera ku kuzuula ebyo ebibadobonkanyeko omuli; ebbula ly’emirimu, abaana obutasoma nga beemalidde kugwa kusala nsawo n’okukkommonta ebiragalalagala, obulwadde bwa mukenenya obulese abaana nga bamulekwa n’abakyala nga bannamwandu, awamu n’ebisoomooza ebirala bingi.

Mulina obuvunaayizibwa bw’okwezza obuggya mu kukkiriza, mu kusuubira ate ne mu kwagala. Ndi musanyufu era mbeebaza olw’ebyo ebirabikako eby’okwezza obuggya ng’omulimu gw’okuzimba Ekelezia empya ennene enneeyamba okutuuza abakristu abeeyonde obungi. Mwebale okweerekereza ensimbi, obudde, ebintu ebikalu ate n’okuwaayo amaanyi gammwe awamu n’ebirowoozo ebirungi mu mulimu gw’okuzimba Eklezia n’Ekisomesa kyammwe.Mbasabira obumalirivu ku mulimu guno era mugumalirize bulungi.

Nga tukuza olunaku luno mbakuutira Kalaala Nalumansi mu mwekwate olukoba, mweyongere okw’egayirira Omukama Katonda nga muyita mu buwolereza bwe. Mu ngeri y’emu mbakoowoola mwenna, mubeere bajulirwa ba Kristu mu bigambo n’ebikolwa nga mulabira ku Kalaala Nalumansi ono. Nga Pawulo omutume bwatugamba (Romans 8: 35) waleme kubeerawo kibaawula na Kristu.

Mbaagaliza okujaguza obulungi olunaku lw’Ekisomesa ng’Omutuukirivu Kalaala n’Abajulizi ba Uganda babawolereza.

Nze Ssaabasumba wammwe, abaagala ennyo era abasabira bulijjo,

†Paul Ssemogerere
SSAABASUMBA WA KAMPALA

Leave a Reply