Ab’oluganda abaagalwa ennyo mu Kitagobwa Parish,
Eddembe, okwagala, n’ekisa eby’Omukama bibeere nammwe mwenna!
Nga tukuza olunaku lw’ekifo kyaffe kino, mbakulisa okutuuka ku lunaku luno. Mungeri ey’enjawulo, twebaza Omukama Katonda atusobozesezza okukunngaana nate omulundi guno mu bungi oluvannyuma lw’ebbanga olw’ekirwadde kya kolona ekyatuzinga.
Olunaku luno kaseera kakulu mwetusisinkanira okwongera okumanyagana ng’Abaana ba Katonda mu kitundu ekimu (parish) ekikubiddwa Omusumba w’Essaza. Njagala okwebaza ennyo Rev. Fr. Anthony Musuubire, Omukulu w’Ekifo kino, abasaserdooti abamuyambako mu buweereza olw’okufaayo okubakolamu omulimo gw’Omukama nga tebeebalira.
Abakulembeze bonna okuviira ddala ku bubondo okutuuka ku Ssaabakristu w’Ekifo, tubakulisa era tubeebaza olw’obuweereza bwammwe eri Eklezia. Obuweereza buno kabonero akalaga nti Eklezia wammwe, mumwagala era mufaayo olw’obulungi bwe asobole okukulaakulana era atuukirize obuvunaanyizibwa Omukama bweyamulekera ku nsi, anti, kwekulangirira amawulire agasanyusa (cf. Mat 28:18) eri abaavu, bamuzibe, abasibe, n’abasobeddwa; era bangi balege ku kwagala kwa Katonda mu bulamu bwaabwe (cf. Yis 61:1).
Emyaka giweze Abiri mu ebiri bukya Kitagobwa akubwa ng’Ekifo ekyetongodde okusobola okutuusa obulamu bwa Kristu eri bantu abawangaalira mu kitundu kino. Mbakulisa okutuuka ku myaka gino! Tusaba Omukama atukuze mu bujjumbizi bw’eddiini n’Amasakramentu. Njagala okubajjukiza nti Omulimu gw’okulangirira Kristu tegukoma kw’abo abajja mu Eklezia mu Missa ku ssande, naye tugwongeremu amaanyi nga tubeera bajulirwaabe wonna wetubeera nga tutandiikira mu maka gaffe, ku mirimu gyaffe, gyetukunngaanira okwewummuzaako, ne mu masomero; anti obutume buno bwa buli mubatize.
Essaza lyaffe omwaka guno lyebuulirira ku mulamwa ogugamba, nti: “Situka, kwata olunnyo lwo otambule” (Marko 2:11). Ebigambo Yezu byeyagamba omusajja eyali akonvubye, ataalina n’amaanyi kusituka wadde okutambula. Okuyita kwa Yezu kuno naffe kutuzzeemu amaanyi oluvannyuma lw’ebbanga lino ery’omuggalo; bangi tubadde tuddiridde mu kukkiriza olw’okusoomoozebwa okungi. Ate namwe nga mukuza olunaku kw’Ekifo mwalonze omulamwa ogugamba nti, “Kyonna kyabagamba mukikole” (Jn. 5:2). Awonno omukisa guno omukama gw’atuwadde okukunngaana awamu ng’Aboluganda, kabe kabonero akatukubiriza okuddamu okumwesiga mu byonna nga tetubuusabuusa.
Mukiseera kino mutandikiriza olugendo lw’ekijaguzo eky’emyaka abiri mu etaano bukya Ekifo kino kikubibwa. Bingi ebituukiddwaako era twebaza Omukama nammwe mwenna olw’okufaayo Naye okusobola okusenvula n’amaanyi nga temuddiridde, amaaso mugasimbe ku Kristu, Omumuli gwaffe era amaanyi gaffe, atukulembera mu kukkiriza (cf. Ebur 12:2); atusobozese bulijjo ng’Abantu ba Katonda, ababatize, okuba omunnyo, ekitangaala era ekizimbulukusa eri ensi (cf. Mat 5:13-14), olwo ensi emumanye era efune mu ye obulamu obutaggwaawo.
Mbaagaliza okujaguza obulungi; nga muwolerezebwa bulijjo, Nnyaffe Bikira Maria owa Rosari, Omukama nammwe abawe okugabana ku nneema ey’obutuukirivu mu bulamu bwammwe obwabulijjo.
Nze abeebaza era abasabira Omukisa gw’Omukama,
†Paul Ssemogerere
SSAABASUMBA WA KAMPALA