Ab’oluganda abaagalwa ennyo mu Nakulabye Parish,
Eddembe, okwagala, n’ekisa eby’Omukama bibeere nammwe!
Nga tukuza olunaku lw’ekifo kyaffe kino, mbakulisa okutuuka ku lunaku luno. Mungeri ey’enjawulo, twebaza Omukama Katonda atusobozesezza okukunngaana nate omulundi guno mu bungi oluvannyuma lw’ebbanga olw’ekirwadde kya kolona ekyatuzinga.
Olunaku lw’ekifo ke kaseera akeesiifu mwetusisinkanira okwongera okumanyagana ng’abaana ba Katonda mu kitundu ekimu (parish) ekikubiddwa Omusumba w’Essaza. Njagala okwebaza ennyo Rev. Fr. Simon Peter Lule, Omukulu w’Ekifo kino awamu n’abasaserdooti abamuyambako mu buweereza olw’okufaayo okubalunda nga tebeebalira.
Munzikirize mu ngeri ey’ensusso nnebaze Rt. Rev. Edward Albert Baharagate, Omusumba omuwummuze owa Hoima, olw’ebbanga lyamaze wakati mu mmwe ng’omusaaserdooti era omuweereza wammwe. Wadde nga takyali wakati mu mmwe naye Omulimo omulungi era ogusanyusa gw’alesse abakozeemu gunajjukirwa nnyo. Mu kiseera kino eky’obukadde bwe n’obunafu, twongere okumukwasa Omukama amuwambaatire era amujjanjabe.
Njagala okwebaza Ssaabasumba Augustine Kasujja, Omubaka wa Paapa, akkirizza okujja era mwaniriza mu ngeri ey’enjawulo abakulembere mu Kitambiro kya Missa ku lunaku luno olw’Ekifo kyaffe. Ssebo webale kukkiriza kujja!
Abakulembeze bonna okuviira ddala ku bubondo okutuuka ku Ssaabakristu w’Ekifo, tubakulisa era tubeebaza olw’obuweereza bwammwe eri Eklezia. Obuweereza buno kabonero akalaga nti Eklezia wammwe, mumwagala era mufaayo olw’obulungi bwe.
Essaza lyaffe omwaka guno litambulira ku mulamwa ogugamba, nti: “Totya, Situka, Twala olunnyo lwo otambule” (Marko 2:11). Ebigambo Yezu byeyagamba omusajja eyali akonvubye, ataalina n’amaanyi kusituka wadde okutambula. Okuyita kwa Yezu kuno naffe kutuzzaamu amaanyi oluvannyuma lw’ebbanga lino ery’omuggalo; bangi tubadde tuddiridde mu kukkiriza olw’okusoomoozebwa okungi. Omukisa guno omukama gw’atuwadde okukunngaana awamu ng’Aboluganda, kabonero akatukubiriza okuddamu okumwesiga mu byonna nga tetubuusabuusa.
Nakulabye yakubwa okusobola okutuusa obulamu bwa Kristu ku bantu mu bwangu. Mu myaka gino Nakulabye atuukirizza obutume buno; abadde akabonero akawagira amaka amakristu era n’okusobozessa bangi okutuuka ku mwaliiro omutukuvu ogw’Omukama. Twaaniriza abo abeevuddemu olwaleero okutukuza obufumbo bwabwe mu Eklezia era tubasabira nti Omukama abakulembere; omukwano gwabwe aguteekeeko envumbo, baabale ebibaala eby’obulamu obutaggwaawo mu maka gaabwe era babeere akabonero akasikiriza abalala okwettanira esakramentu lya Matrimonio.
Tukulisa omwana enzaalwa eya Parish yaffe eno, Rev. Fr. Dominic Savio Mugerwa, awezezza emyaka abiri mu etaano mu buweereza ng’Omusaaserdooti w’Omukama. Twebaza Omukama eyamuyita era amusobozesezza okuba omwesigwa emyaka gino, oyo amukongozze yonna gyamutumye okuweereza. Tugambire wamu n’omujaguza nti, “bulijjo naayimbanga ekisa kyo Mukama, era n’atendanga obwesiigwa bwo mu mirembe” (Zabbuli 89:1). Wattu Fr. Mugerwa kulika nnyo!
Mukiseera kino mutandikiriza olugendo lw’ekijaguzo eky’emyaka ataano bukya Ekifo kino kikubibwa. Bingi ebituukiddwaako era twebaza Omukama nammwe mwenna olw’okufaayo. Kati nga muli ku mulimo gw’okuzimba ekijjukizo eky’emyaka egyo, nnyongera okubakubiriza okutwala omulimu gwa Fatima House mu maaso era ng’eyo y’emu ku pulojekiti ezinaayamba Ekifo kyaffe okwerabirira gyebujja.
Mbaagaliza okujaguza obulungi; nga muwolerezebwa bulijjo, Nnyaffe Biikira Maria owe Fatima, omuzadde omulungi era ow’ekisa, Omukama abongere amaanyi ag’okubunyisa Obwakabaka bwe wonna.
Nze abeebaza era abasabira Omukisa gw’Omukama,
†Paul Ssemogerere
SSAABASUMBA WA KAMPALA