Ab’oluganda abaagalwa ennyo mu Kisomesa kyaffe ekya St. Kizito Kabojja, mu kigo kyaffe ekya Yozefu Omutuukirivu, Kyengera; mbalamusa n’essanyu lingi ddala. Mbeebaza okumpita, ate era nembakulisa okutuuka ku lunaku luno. Mwantegeeza nti ku luno mwagla okukuza olunaku lw’ekisomesa kyammwe, okutukuza obufumbo, ate n’okusonderako sente okumalayo ebbanja lye mwewola mu Centenary Bank, okugula ettaka omuli n’ennyumba.
Mbeebaza omulamwa gwe mwalonda: Naddizaki Omukama olwa byonna bye yampa? Nja kusitula Ekikomple ky’obulokofu nkowoole erinnya ly’Omukama (Zab. 116:12-13). Ddala mw’salawo bulungi nnyo anti nga ku nsi kuno ne muggulu tewali ssaala esinga kusitula Kikompe ne tukowoola erinnya ly’Omukama. Olukiiko lwa Vatikano II kye lwava lutugamba nti Missa y’ensibuko, entabiro era entikko y’obulamu bwa Eklezia bwonna (Ekiwandiiko ekikwata ku Ntendereza No. 10).
Mbakulisa embeera enzibu zonna mwe tuyise nga omwo mwe mubadde n’okufiirwa abantu baffe ate era nga na kati obulamu mu by’enfuna n’obutebenkevu nga eggwanga nga bukyetaaga essaala za ffenna. Mbakulisa era ne mbeebaza okwetaba obulungi mu Synod ya Kitaffe Paapa Francis, mw’atuyitidde olunye, tutambulire wamu mu mbeera z’obutumwe bwaffe zonna, n’abantu bonna Abakatoliki n’abatali!
Nga Ssaabasumba wammwe, mu buvunaanyizibwa Omukama bwe yankwasa mu ssaza ekkulu lino erya Kampala, byonna mbirabira mu Motto gye nnalonda nti: Mu byonna tusobole okukula mu bulamu bwa Kristu (Efesi 4:15). Awo nno nsanyuka nnyo okulaba nga mu Parish ekyali ento nga Kyengera ate mulimu omutima guno ogw’okukolera awamu n’ebisomesa ate byongere okulinnyisa omutindo! Nkakasa nga tekiri ku mutindo gwa bizimbe na ttaka gwokka, naye n’ogw’okunyweza omusingi gw’amaka mu kukkiriza ate n’abaana baffe okubamanyisa omuwolereza w’ekisomes kyaffe kino: Kizito omuto, bamwagale, bamulabireko.
Mu Kisomesa kino, kangambe nti siri mugenyi anti nninamu bazadde bange ate n’ab’emikwano, bwe tumaze ebbanga nga tutambula wamu, mu kukkiriza okuviira ddala nga nkyali mu Christ the King Parish. Mu bano mwe mwali n’abamperekera nga Kitaffe Paapa Francis, ampise wamu ne Bassabasumba abapya bonna, okufuna ekyambalo ky’obuvunaanyizibwa bw’ettwale lino: Kampala Province!
Tugenda okukuza olunaku lwaffe luno nga 14 Agusto ate enkeera tukuze olwa Nnyaffe B. Maria okutwalibwa mu ggulu. Nnyaffe B. Maria ono, Emunyeenye y’Evangili, Kabaka w’abajulizi nga mwe muli ne Kizito omuto, era omuwolereza w’ekisomesa kyammwe ayongere okutuwolereza n’okuwambatira ffenna abaanabe, tusobole naffe okutuuka mu ggulu nga yye.
Owammwe mu Kristu Yezu era abasabira bulijjo,
†Paul Ssemmogerere
SSAABASUMBA WA KAMPALA