You are currently viewing OBUBAKA BWA SSABASUMBA PAUL SSEMOGERERE<br>MUDUUMA CATHOLIC PARISH – 24/04/2022

OBUBAKA BWA SSABASUMBA PAUL SSEMOGERERE
MUDUUMA CATHOLIC PARISH – 24/04/2022

Abaagalwa ennyo, abantu ba Katonda mwenna mu Muduuma Catholic Parish. Ne ssanyu lingi mbaanirizza era mbakulisa okutuuka ku Mazuukira ga Mukama waffe Yezu Kristu ag’omwaka guno 2022, muyogeyoge nnyo!

Twebaza Omukama Katonda abakuumye ate n’abagabirira ebirungi eby’omwoyo n’eby’omubiri bukya kifo kino kitandikibwawo. Mazima ddala Omukama oyo asaana kwebazibwa kubanga mulungi nnyo era ekisa kye kya mirembe gyonna (Zabbuli 136: 1). Ntwala omukisa guno okusaasira abo bonna abafunye ebizibu ebitali bimu; tusaba Omukama abakubagize era abadduukirire mu byetaago byammwe byonna.

Ngatukuza olunaku lw’ekifo kya Muduuma, nkakasa ng’abakulu mummwe abamu mumanyi eby’afaayo by’ekigo kino. Muduuma kyali kisomesa ekyatwalibwanga ekigo ky’e Kkonge nga kyagunjibwawo olw’esonga y’okusembeza Eklezia eri abantu ba Katonda nga twanguyiza abantu okutuuka eri Mukama waffe Yezu Kristu. Era ndi musanyufu nnyo okulaba ng’esonga eno etukiridde. Okuva ekifo kino lwekyabangibwawo Cardinal Emmanuel Nsubuga (R.I.P) nga 24 June 1978, abasaaserdooti bangi abazze nga bagabibwaawo era nga bakola nabwezizingirire okulaba ng’ekigo kino kikulukulana. Wano wenjagalira okwebaza Abasaaserdooti bonna abalina omusingi gwe bateeka mu nkulakulana y’ekifo kino. Okwo ngatako abakristu abo abaali mu bukulembeze mu mitendera egy’enjawulo awamu n’abantu abenjawulo abaateeka ettafaali mu kuzimba Eklezia eno.
Mu ngeri eyenjawulo njagala okwebaza omukulu w’ekifo aliwo kati Faaza Joseph Kato wamu n’omumyuka we Faaza Stephen Lugonvu; mwebale okuweereza abantu ba Katonda mu kwagala, mu kwemaliza ate ne mu ssanyu. Tusiima nnyo obuweereza bwammwe. Mu ngeri y’emu ntuusa okusiima kwange eri abakulembeze bonna okuviira ddala ku bubondo okutuuka ku Ssabakrsitu w’ekifo. Bassebo ne bannyabo mwebale okwagala n’okuweereza Eklezia wammwe. Neebaza n’abakristu bonna awamu n’abantu ba Katonda bonna abaagaliza Muduuma enkulakulana ey’omuggundu mu naddala Ba members ba Mityana Corridor abakulemberwa Eng. Fredrick Kitandwe n’omukyala okuwagira ate n’okwetaba mu butume bwa Muduuma Parish. Wano wensinziira okubeebaza mwenna ate n’okubakulisa ebirungi bye mutuuseeko ng’Ekifo; naddala okuzimba Eklezia eno ettukuziddwa olwaleero.
Buli wetukuza olunaku lw’Ekifo, tubaako omulamwa ogutulambika, era nga ku mulundi guno gugamba nti; “Totya, Situka, Twala olunnyo lwo otambule” (Mk. 2:11). Nga banna Muduuma nga mujjukire ebirungi enkuyanja Omukama byabakoledde mu maka gammwe, amasomero, emirimu ate ne mu Eklezia okutwaliza awamu, kino kibawa okunywerera ku Mukama waffe Yezu Kristu ono Omuzuukivu anti nga bweyammegga walumbe, buli kizibu ajja kukibayisaamu. Mazima ddala bwemujjukira Omukama gyabajje ne byabayisizaamu nga muli muddimu ery’okuzimba Eklezia yammwe, mulina ensonga okujaguza ate n’okwebaza Katonda. Era nga tuzze ku lunaku luno okujaguza n’okwebaza olw’ebyo Katonda byabakoledde ng’Ekifo kya Muduuma, Omukama mumwekwate olukoba ajja kubatuuse ne ku birungi ebirala nfaafa.
Omulamwa gumaliriza gubayita okusituka, mutwala enyinyo zammwe mutambula. Era ku nsonga eno nkubiriza banna Muduuma mwenna okwetaba obutereevu mu nteekateeka z’Eklezia nga mwezza buggya; mu maka, mu masomero, ne ku mirimu gye mukolera ngamulambikibwa Evanjili ya Kristu. Mu kukwata enyinyo zammwe kuno, mufube mwenna okussa ekimu mu kwagalana; nga mujumbira Eddiini naddala okufuna amassakramentu, okwegayirira mu maka n’okwetaba mu bibiina eby’enkola enkatoliki; era Mubeere bantu bakozi nnyo ate ab’ezimba ne muzimba n’Eklezia wammwe.
Mbakuutira okwongera okwagala n’okwekwasa omuwolereza w’ekifo kyammwe gwetukkiriza nti essaala zammwe era n’okuwanjaga kwammwe nga banna Muduuma abyanjula eri Omukama Katonda waffe. Nga tuli mu ssanyu lya mazuukira ga Mukama waffe Yezu Kristu, mbakuutirira okwongera okunyweza okukkiriza, okusuubira ate n’okwagala ennyo Kristu Yezu oyo omununuzi waffe.
Mbagaliza okujaguza obulungi n’emikisa gy’Omukama, Nnyaffe Maria Kabaka w’abatume, bulijjo babawolereze.
Nze Ssabasumba wammwe, abaagala era abasabira bulijjo.

†Paul Ssemogerere
SSABASUMBA WA KAMPALA

Leave a Reply