Abantu ba Katonda mwenna, ku lwange ne ku lw’Essaza Ekkulu erya Kampala, ntuusa obubaka bwange obukulisa eri abantu ba Katonda mu Kisomesa kye Kawanda olw’okufuna Ekigo. Mukulike nnyo, mukulikire ddala! Twebaza Omukama olw’ebirungi byonna by’atuwa ate naddala Ekigo kino ekipya ky’akubye mu Ssaza lyaffe. Ggwe wamma Omukama oyo omugabi w’ebirungi asaana kutenda!
Twebaza n’Omugenzi Ssaabasumba waffe omwagalwa, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyatandika omulimu gw’okuteekateeka Ekisomesa kino okufuuka Ekigo eky’etengeredde. Tusaba Omukama amuwe ekiwummulo eky’emirembe.
Twebaza Abakristu ab’omutima omulungi, abe Proscot (Whiston) Liverpool abaatuyamba mu ntandikwa na bonna abalina kye bakoze okuyambako naddala mu mulimo gw’okuzimba. Mu ngeri ey’enjawulo, twebaza Omwami n’omukyala E.N. Mwanje abaatema omusingi n’okutandika okuzimba.
Twebaza Babwanamukulu be Jinja Kalori naddala Fr. Buwembo S. abaleze Ekisomesa kino. Twebaza Parish Aministrator Rev. Fr. Robert Ggaliwango, olw’okukumaakuma Ekisomesa n’okukituusa mu mbeera ekisaanyisizza okufuuka Ekigo.
Bingi ebituukiddwaako okugeza okuzimba ennyumba y’abakulu ne offices awamu ne SACCO gyemutandise era twebaza Omukama nammwe mwenna olw’okufaayo. Naye okusobola okusenvula n’amaanyi nga temuddiridde, amaaso mugasimbe ku Kristu, Omumuli gwaffe era amaanyi gaffe, atukulembera mu kukkiriza (Ebur 12:2); atusobozese bulijjo ng’Abantu ba Katonda, ababatize, okuba omunnyo, ekitangaala era ekizimbulukusa eri ensi (Mat 5:13-14), olwo ensi emumanye era efune mu ye obulamu obutaggwaawo.
Essaza lyaffe litambulira ku mulamwa ogugamba, nti: “Situka, kwata olunnyo lwo otambule” (Marko 2:11). Ebigambo Yezu byeyagamba omusajja eyali akonvubye, ataalina n’amaanyi kusituka wadde okutambula. Okuyita kwa Yezu kuno naffe kutuzzeemu amaanyi oluvannyuma lw’okufuna ekigo, naffe tusituke, tutambule namaanyi mu bye tukola byonna.
Ekigo kino kitongozeddwa ku Lunaku luno nga kikwasiddwa Cyprian Omutuukirivu akiwolereze, nga mukadde waffe omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito bwe yasaba mu nteekateeka ezakulembera nga alambula ekifo kino. Bannakawanda, mbakuutira okulabira ku Cyprian Omutuukirivu omuwolereza w’Ekigo kyammwe nga mubeera n’obuvumu mu kukkiriza ate abawulize eri ebiragiro by’Omukama, nga mwagala Katonda wammwe, nga mujjumbira Amasacramentu, nga mwagalana n’okwoleka empisa ennungi ez’Obukristu ate nga muli bakozi.
Mbeebaza mwenna abazze okujagulizaako Bannakawanda nga bafuna Ekigo. Twongere okusabira Ekigo kino n’abantu abakirimu Omukama abanyweze mu kukkiriza, okusuubira n’okwagala. Mbakwasa Cyprian Omutuukirivu abawolereze mu byonna, era mbasabira emikisa gya Katonda mu byonna.
Nze owammwe mu Kristu,
†Paul Ssemogerere
SSAABASUMBA