You are currently viewing SSAABASUMBA AYOGERA ERI ABATO – Mikwano gyange abato, emirembe gibeere nammwe. Yezu abaagala nnyo era abayita mujje gy’ali buli lunaku (Mk. 10:13-16).

SSAABASUMBA AYOGERA ERI ABATO – Mikwano gyange abato, emirembe gibeere nammwe. Yezu abaagala nnyo era abayita mujje gy’ali buli lunaku (Mk. 10:13-16).

SSAABASUMBA AYOGERA ERI ABATO

Mikwano gyange abato, emirembe gibeere nammwe. Yezu abaagala nnyo era abayita mujje gy’ali buli lunaku (Mk. 10:13-16). 

Nange leero nzize okubabuulira ku buyonjo kubanga ndaba nnyo abaana nga balya kyokka nga tebasoose kunaaba ngalo. Engalo zaffe zibeeramu obuwuka bukattira. Olw’ensonga nti tukwata ku bintu bingi; nga okuggula enzigi ezeeyambisibya abangi, okukwata ku bitabo abalala bye babeera ba kuteko, n’ebirala bingi.

Awo nno, buli kintu ky’okwatako kiriko obojama! N’olwensonga eno, naabanga bulijjo mu ngalo nga ovudde emmanju, bw’oba tonnalya oba ng’omaze okulya ate era naabanga engalo ozitukuze.

Waliwo abatayagala kunaaba mubiri gwabwe, mbawulira eyo ku masomero gamwe. Kino kyabulabe nnyo. Tuyina okunaaba emibir gyaffe wakiri emirundi ebiri, buli lunaku nga tukozesa amazzi amyonjo, ekyangwe awamu ne ssabbuuni.

Nga tumaze okuyonja emibiri gyaffe. tuyina n’okunaaba emyoyo gyaffe. Ekinaabiro ky’emyoyo gyaffe ye Penitensia; essakramentu eritusonyiwa ebibi byaffe byetukola nga tumaze okubatizibwa. Essakramentu lino lituwebwa Omusumba ate n’Omusaserdooti bokka. N’olwekyo, munnange, osaanidde okwejjusa buli lw’okola ekibi.

Omwana omuyonjo asanyusa nnyo Yezu.

Mbaagala nnyo era Omukaam abankumire mwenna.

Nze,

 +Paul Ssemogerere Ssaabasumba

Leave a Reply